Saturday, December 26, 2020

Abazigu badduse n'emmundu poliisi ne bagirekera masasi: Ekutte bana.

Abazigu badduse n'emmundu poliisi ne bagirekera masasi: Ekutte bana.

Bya Henry Nsubuga ne Joan Nakate

Poliisi egudde mu lukwe lw'abateeberezebwa okuba abazigu ab'emmundu ababadde basula mu Royal Guest House ku kyalo Kikooza mu kibuga Mukono okubba abantu n'ebakwata.

Abaakwatiddwa nga bali ku kabangali ya poliisi.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Patrick Onyango ategeezezza nti baafunye amawulire nga bwe waliwo abazigu ab'emmundu abasula mu kifo kino ne bakola enteekateeka okubakwata. Bino byabaddewo ku Lwokutaano ku Ssekukkulu ku makya.

Eby'embi kigambibwa nti abazigu bennyini beemuludde n'emmundu wabula nga poliisi eriko amasasi ge yakukunudde mu kimu ku bisulo mu kifo kino. Agambye nti baliko abantu be bakutte ng'okunoonyereza ku musango guno ogw'okubeera n'emmundu oguli ku ffayiro nnamba SD11/25/12/2020 bwe kugenda mu maaso.

Abaserikale nga batwala Ssennyonga eyakwatiddwa.

Abakwate kuliko: maneja w'ekifo kino Jamiru Gangira, bakasitoma abaasangiddwa mu bisulo omuli Hellen Nalumu ne Richard Niwahereza. Wabula ne nnannyini kifo kino Faridah Nakato poliisi yamututte n'emukunya okulaga oba alina ky'amanyi ku ky'abazigu bano oba nedda.

Onyango yategeezezza nti aduumira poliisi mu divizoni y'e Mukono Abubaker Musiho akifo kino yakiggadde ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Hellen Nalumu naye eyakwatiddwa.

Abeerabiddeko n'agaabwe nga poliisi etuuka mu kifo kino baategeezezza Bukedde nti poliisi kyagitwalidde akabanga ng'eragira abaabadde munda baggulewo nga beeremye okutuusa lwe yakozesezza omukka ogubalagala gwe yakubye munda olwo ne balyoka bavaayo ne bagiggulira.

Poliisi yayazizza buli wamu n'etuuka n'okubambula amabaati waggulu okulaba oba eriyo abeekwese waggulu mu ssiiringi naye nga teri kiriyo.

Abamu ku batuuze baategeezezza nti obumenyi bw'amateeka ku kyalo Kikooza buyitiridde nnyo mu kiseera kino omuli okumenya amaduuka, okunyakula obusawo bw'abakyala n'okubba amasimu naye ng'obunyazi obw'emmundu babadde tebannabuwulirako.

Poliisi era mu kifo kino yakutte n'omuvubuka Abdulatif Ssenyonga eyeeyita Tifan eyabadde akozesa essimu ye ng'akwata ebigenda mu maaso naye ng'alina enviiri ezimanyiddwa ng'amalaasi.

Bwe baakebedde mu ssimu ye, poliisi yasanzeemu ekifaananyi ky'ono ng'ali mu byambalo by'amagye olwo ne bamunyweza ne bamusaba aleete emmundu wabula ng'agamba nti olw'okuba muyimbi, ebyambalo ebyo yayambala byambale mu situudiyo ne bamukuba ebifaananyi ng'eby'emmundu tabimanyiiko.

Ate amawulire g'ono okukwatibwa olwagudde mu matu ga maamawe n'azirika okumala akaseera era bwe yazze engulu ne yeegayirira abasirikale bamute naye nga buteerere.

Bano bonna bakuumibwa ku poliisi y'e Mukono ng'okunoonyereza ku misango gyabwe bwe kugenda mu maaso.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts