OMUBUULIZI w'Ekkanisa ya St. James Kawanda Church of Uganda mu busumba bw'e Kiryagonja, Samuel Kibalama yennyamidde olw'abakkiriza abasusse okutamiira ne beerabira Mukama Katonda.
Agambye nti abasinga bamujjukira embeera ebazitooweredde nga waliwo n'ebigaanyi mu bulamu bwabwe ng'ate oluusi obudde buba buyise ekintu ekikyamu.
Kibalama yagambye nti abantu bangi abakeera mu masinzizzo kyokka ekisinga okwennyamiza bwe badda mu maka gaabwe nga badda mu kufuuwa ebbidde n'okukola ebintu ebirala ebikontana n'enzikiriza ya Mukama Katonda.
Yabadde abuulira ku Ssekukkulu n'agamba Abakrisitaayo nti olunaku luno lubeera lwa kwezza buggya kyokka n'agamba nti mu kifo ky'okusembeza Mukama Katonda ate badda mu bintu ebikontana n'enjigiriza ya Mukama waffe. Asabye abakkiriza okusembeza Katonda kuba ye muntu eyeetaaga buli omu era n'asonyiwa abamunyiizizza.