Monday, December 21, 2020

Ab'e Najjembe bafunye amagoba ga loole Museveni gye yabawa

Ab'e Najjembe bafunye amagoba ga loole Museveni gye yabawa

Omubaka wa gavumenti mu Disitulikiti y'e Buikwe, Jane Francis Kagaayi abasabye bulijjo obutatunuulira bantu babagya ku mulamwa wabula batunuulire ababatwala mu maaso.

Abasuubuzi nga beetegereza loole yaabwe.

Abagambye nti basuubuzi bannaabwe be beerondera okulabirira loole eno be baali bagyonoonye era bwe baamutegeeza n'abakwata n'abasiba nga kati ekola amagoba. Yabawaddeko obukadde butaano ze baagabanye mu bitongole eby'enjawulo.

Abasabye okukyawa abantu ababazza emabega n'agamba nti ssinga mmotoka eno okuva lwe yabaweebwa ebadde ereeta ssente, ssinga bali wala. Asiimye olukiiko oluddukanya mmotoka eno olusobodde okugiddaabiriza ne lugizza bugya n'etuuka n'okukola obukadde musanvu nga ku buno butaano bwe buweereddwa ebitongole eby'enjawulo beekulaakulanye.

RDC ng'akwasa abasuubuzi ssente. (Ebif. Mukasa Kivumbi).

Sitenda Harriet omuwanika w'olukiiko oluddukanya mmotoka eno agambye nti mu kusooka yali yakwatibwa bubi kyokka kati baagitereeza era eri mu mbeera nnungi. Yayongedde nti baasasuddeko n'ebbanja ly'amasannyalaze eribadde limaze ebbanga nga libatawaanya.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts