Monday, December 21, 2020

Eddiini tebagaana kwabya nnyimbe - Katikkiro

Eddiini tebagaana kwabya nnyimbe - Katikkiro

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye abantu okukomya okuwuddisibwa ne batuuka n'okuva ku nnono zaabwe okuli okwabya ennyimbe ne badda mu kutambulira ku z'Abazungu olw'eddiini ze basoma!

Katikkiro ng'aliko byayogera n'omusika Fred Ddungu Lugoloobi eyasikidde Joseph Kabenge.

Bino yabyogeredde mu Nansana West ku Lwomukaaga bwe yabadde ku mukolo gw'okwabya olumbe lw'eyali Omwami wa Kabaka atwala eggombolola Mutuba II Nabweru, Joseph Kabenge. Yagambye nti okwabya ennyimbe mukolo muzzang'anda egimu ku giggyayo ekitiibwa kya Buganda abantu gwe batasanye kwebalama.Yategeezezza nti omuntu asooka kuba Muganda nga tannasoma ddiini yonna. 

Katikkiro era yasabye Obuganda okwongera okukola ennyo okukyusa embeera yaabwe naddala mu byenfuna nga kino kyakubayamba okulemesa abo abaagala okubatwalako ensi yaabwe.

Fr. Dominic Mwebe eyakulembeddemu okusaba.

Minisita Omubeezi owa gavumenti ez'ebitundu Joseph Kawuki asabye Omusika Fred Ddungu Lugoloobi okugenda mu maaso nga yeetaba mu mirimu gy'Obwakabaka nga kitaawe bw'abadde akola.

Ekitambiro kya mmisa kyakulembeddwamu Fr. Dominic Mwebe atwala ekitundu ky'e Nansana. Yeebazizza Mayiga emirimu gyakoze okuzzaawo ekitiibwa kya Buganda wabula n'alaga obwenyamivu olw'ennyambala embi eri mu bakyala n'ebikolwa ebirala by;alaba nga bittatana obuwangwa bwa Buganda.

Fred Ddungu Lugoloobi ye yasikidde kitaawe Kabenge nga Lubuga we ye Aga Khan Nagitta ate Ethan Morris Ssekajja yasikidde kitaawe Julius Gitta eyasooka kitaawe Kabenge okufa. Baasuumikiddwa ow'Olunyiriri lwa Ssebwanuke mu Kika ky'envuma,Buleedi Tabula Kasirye.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts