Friday, December 25, 2020

Abeesimbyewo balaze bye baagala okuloopera Kristo

Abeesimbyewo balaze bye baagala okuloopera Kristo

ABEESIMBYEWO ku Bwapule zidenti bonna11, basaba essaala emu ya kufuna buwanguzi mu kalulu akajja; kyokka bwe kituuka ku bintu bye banditegeezezza Yesu atuzaaliddwa olwaleero, buli omu alina ensonga ey'enjawulo emuli ku mutima gye yanditegeezezza Kristo Omulokozi.

Bukedde yayogedde n'abeesimbyewo ku Bwapulezidenti bwa Uganda okuli; Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine (NUP), Nobert Mao (DP), Patrick Amuriat Oboi (FDC), Mugisha Muntu (ANT), abalala abatalina bibiina mwe bajjidde okuli: Henry Tumukunde Kakurugu, John Katumba, Nancy Kalembe, Willy Mayambala, Fred Mwesigye ne Joseph Kabuleeta ne balaga bye bayinza okutegeeza Yesu ku mbeera y'akalulu egenda mu maaso, akatuubagiro akaleeteddwa obulwadde bwa COVID-19 n'ensonga endala eziri ku mitima gy'abeesimbyewo.

Mao ku mukolo ogumu e Kyotera.

1: NOBERT MAO OWA DP: Bwe nsisinkana Yesu kati mmusaba akyuse emitima gy'abantu era mmusaba akyuse omutima gw'Omulamuzi Simon Byabakama (ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda) kubanga kati akola nga Pontio Piraato eyalaba Yesu nga talina musango kyokka n'asalawo obuvunaanyizibwa bwe okubweggyako n'abuwa ebbiina ly'abantu ne lisalawo batte Yesu bayimbule Balaba omumenyi w'amateeka.

Ku mbeera z'abantu, Yesu nandimusabye akyuse emitima gya Bannayuganda balengere ebiseera eby'omu maaso bakomye okulowooza ku bya leero byokka. Nnyongera ne musaba akkakkanye omutima gwa Pulezi- denti Museveni amuwe obwetoowaze buli muntu gw'atun uulira amulabemu omugaso. Akomye okulowooza nti ye yekka ye ntandikwa era enkomerero ku buli nsonga mu Uganda. Mmusaba akyuse engeri gy'anyigamu amapeesa, akimanye nti amapeesa agatambuza eggwanga waliwo n'abantu abalala abasobola okuganyiga.

Nancy Kalembe.

2: NANCY KALEmBE Nandisoose kumusaba buwanguzi naye ekyo ssi ky'ekikulu ennyo, noolwekyo essira nandiritadde ku kumusaba ayambe Bannayuganda balonde omukulembeze omupya atalina nziro yonna era atayiwanga ku musaayi kubanga ogugwe (Yesu) gwe yayiwa ku musaalaba gumala okutukuuma. Okwo nandyongeddeko okumusaba ampe amagezi nsobole okuweereza abaana be bonna mu Uganda mu mazima n'obwenkanya nsobole okuteewo enjawulo mu bukulembeze bwa Uganda.

Mugisha Muntu ng'anoonya akalulu.

3 MAJ. GEN. MUGISHA MUNTU OWA ANT: Bwe nsisinkana Yesu nsooka kumusaba obwenkanya mu Uganda, obwenkanya buve mu bigambo wabula tukirabeko mu bikolwa. Eggwanga nga lirimu obwenkanya, eddembe awatali kyekubiira na kusosola mu bantu olwo emirembe gibeera gijja kubukala mu ggwanga. Musaba abantu bafune obwenkanya n'obuntubulamu kibeera kitegeeza nti abantu bajja kubeera basanyufu. Uganda yeetaaga ekintu kimu bwenkanya ebisigadde bijja kutambula bulungi.

Tumukunde.

4: LT. GEN. HENRY TUMUKUNDE: Bwe nsisinkana Yesu nsooka kumubuuza mu bukkakkamu nti,"Mukama wange lwaki obadde oluddewo nnyo okujja?" Ekyo bw'akinziramu olwo ne ndyoka mmusaba ayambe nnyo Bannayuganda okujjukira ebyafaayo by'eggwanga lyaffe, ebizze bibeerawo ne gye bitukomezza. Emboozi yange naye tebeera mpanvu nnyo, nfundikira mmusaba ayambe abantu bategeere ebyafaayo baleme kuteekawo mbeera ebituzzaamu.

Katumba ng'ayogerako eri abantu.

5: JOHN KATUMBA: Olwamubuuzizza bye yandyagadde okutegeeza Yesu, yasoose kuseka n'asiriikirira okumala akaseera, oluvannyuma n'alyoka ayanukula nti: Nze nandimusabye akalulu kabeere ka mazima na bwenkanya. Olwo n'ayongerako nti akalulu kaatandika bekubiira n'okutuusa kati bakyekubiira n'ebintu ebirala bingi obiraba nga byetaagisa abiyingiremu.

Katumba awo yatandise okulombojja ebintu by'asanze mu kampeyini n'ategeeza nti yatuuse mu bitundu by'e Kotido ng'anoonya akalulu era yandisabye Yesu akyuse embeera embi abantu gye balimu; enguudo mbi nnyo, abantu tebalina mazzi bo balowooza nti Katonda yabeerabira. Katumba yawunzise agamba nti: Nandimusabye akomyewo essuubi ly'abantu abali mu bitundu ebyo kubanga tewali kalungi konna okuggyako ebyobugagga ebiriyo kyokka eky'ennaku biri wansi mu ttaka tebakimanyi nti batudde ku zzaabu.

Abaserikale nga batulugunya Amuriat.

6: PATRICK AMURIAT OBOI: Nga nsisinkanye Yesu, mmusaba azze buggya eggwanga lino aliggye mu mikono gya nnakyemalira. Mmusaba era ataase obulamu bwa Bannayuganda okuva mu kunyigirizibwa kwe bayitamu ekiseera kino era ataase Uganda n'ensi yonna ewone ekirwadde kya Corona ekigootaanyizza obulamu bw'abantu n'ebyenfuna.

Abantu balwadde naye ekirwadde tekirina ddagala nsaba Yesu ataase abantu ku bulwadde buno kubanga bubakaabizza nnyo. Olunaku lwa Christmas sigenda kujaganya na ffamire yange kubanga ng'enda kubeera mu bitundu bya Buganda nga nnoonya akalulu. Ng'enda kukeera mu kusaba nneegayirire Katonda bwe nnaavaayo ntandike okusisinkana abantu.

Mayambala.

7: WILLY MAYAMBALA: Yasoose kwewuunya n'agamba nti, "muganda wange ekibuuzo ky'ombuuzizza nga kizibu nnyo!" Yawulikise nga yeewuunyizza oluvannyuma n'ayanukula nti: Singa mbeera musisinkanye, kye nsooka okumusaba buwanguzi.

Nnyongerako okumusaba awe Uganda obukulembeze obutya era awe Uganda obukulembeze obukuuma abantu nga balamu kubanga ekiseera kino ndaba abantu nga bafa mu ngeri ey'ekyeyonoonero. Nsaba Yesu ayambe eggwanga liwone ekirwadde kya Corona abantu bawone okufa kubanga bwe nzija mu bukulembeze, nnina kukulembera bantu ssi miti.

8: FRED MWESIGYE: Yesu bw'obeera omukkiriza onyumya naye buli lunaku wabula mu mbeera eno singa mbeera musisinkanye nsooka ne mmusaba aggyewo obulwadde bwa Corona kubanga buli olukya omuwendo gw'abalwadde gweyongera okusinziira ku miwendo gye batuwa. Nzizaako okumusaba atereeze eggwanga kubanga obunkenke bungi nnyo n'abantu bafa mu ngeri etategeerekeka.

Mmusaba ayingire mu by'okulonda kubanga tetumanyi binaabeerawo nga kuwedde. Nnyongera okumusaba okulonda kuggwe bulungi abantu baleme kufiira bwereere era mmusabe atuwe omukulembeze anaddira Museveni mu bigere ng'alina empisa etya Katonda; alumirirwa abalala, agatta abantu, atya Katonda ng'asobola okugoberera enteekateeka za Katonda.

Joseph Kabuleeta.

9: JOSEPH KABULEETA: Ekisooka nsaba Yesu atutaase mu kalulu kano kaleme kubeeramu kuyiwa musaayi kubanga twagala akalulu kabeere ka mirembe. Akalulu kabeere ka bwenkanya oyo anaayitamu abeere nga Bannayuganda gwe bakkirizza.

Twagala abantu bakkirize oyo gwe balonze bw'abeera ng'azze bamusimbe mu mugongo tusobole okutambuza eggwanga. Yesu mmugamba alung'amye omuntu addako okukulembera Uganda alwanyise obwavu kubanga bulumye nnyo Bannayuganda, tetukyayagala muntu afa ndwadde ng'erina eddagala kyokka oyo afa lwakuba talina ssente.

Yesu era nandimusabye atuwe omukulembeze anaalwanyisa enguzi, ebitongole bikole ne Bannayuganda beeyagalire mu ggwanga lyabwe tusobole okutambula okutuuka mu nsi ensuubize ng'abantu bawonye obwavu. Nze ng'Omusumba nkimanyi nti Katonda tayagala bantu be kubeera baavu.

Abaserikale nga bakwata Kyagulanyi mu ngeri embi.

10: ROBERT KYAGULANYI (BOBI WINE) OWA NUP: Nkimanyi Yesu abadde alaba ebibaddewo mu ggwanga tayinza kubyerabira kyokka bwe nfuna omukisa ogumusisinkana mujjukiza Bannayuganda emitwalo 50 abaafa nga Pulezidenti Museveni ajja mu buyinza.

Nnyongera ne mujjukiza nti Mukama wange Bannayuganda bangi battiddwa nga ddereeva wange Yasin Kawuma yattibwa era ne Bannayuganda bangi battiddwa mu November omwaka guno kyokka tukimanyi nti tebalina musango. Bwe nfuna omukisa mmujjukiza amaziga ga Bannayuganda n'abantu abangi abattibwa e Kasese, enguzi n'okusosola mu mawanga n'okukotoggera Bannayuganda ne batafuna bye balina kufuna. Yesu bwe musisinkana mutegeeza nti Bannayuganda bangi bakwatiddwa ne basibibwa mu makomera era bangi tebafunye mukisa kutwalibwa mu kkooti kuwozesebwa.

Yesu era mmusaba nga bwe yasazeewo okumpa omukisa okwesimbawo, anzikirize nze eyakulira mu Ghetto nnyongere okukulemberamu abantu mbatuuse mu Uganda empya. Wabula newankubadde mmusaba oba okumujjukiza bino, tukakasa nti buli kimu akimanyi era ye nsonga lwaki ku mulundi guno yasazeewo nneesimbewo.

Museveni.

11 PULEZIDENTI YOwERI MUSEVENI (NRM): Mu bubaka Pulezidenti Museveni bw'azze aweereza Bannayuganda mu myaka egiyise abadde akkaatiriza ebigambo bino, ng'ayogera ku Yesu n'amazaalibwa ga Kristu: Ekiseera kya Christmas kibeera kyaffe ffenna okwejjukanya n'okukuba ttooci mu bye tukoze omwaka guno nga bwe twabitegeka nga tutandika.

Twebaza Katonda era twesigama ku kisa kye kitukulembere okutuyinza omwaka ogujja mu mirembe. Mu bubaka bwa 2014 ng'obubenje bweyongedde nnyo, Museveni yagamba nti: Mbaagaliza Christmas n'omwaka omuggya. Mwegendereze muleme kuvuga ndiima nga mutambula mu nnaku enkulu. 

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts