AB'OKU Kaleerwe, Ssekukkulu bagijagulizza mu ggiya ng'abamu bannabyabufuzi abeesimbyewo abawagizi baabwe baataddewo ebidongo ne basala ddansi .
Ssekukkulu y'omwaka guno ejja kulwawo okwerabirwa olw'abantu abaali bamanyidde okugenda mu bivvulu nga ku luno abasinga baagimaliddeko mu maka gaabwe.
Bbo abawagizi ba Patrick Ssewannonda eyeesimbyewo ku bwakansala bwa mu muluka gwa Makerere III e Kawempe baakungaanidde ku mwala ku Ssebina Zooni.
Obwedda buli wamu waliwo obubinja bw'abajaguza Ssekukkulu ng'abamu baaguze ennyama ne bagyookya nga bwe banywa omwenge nga bwe zaaweze ssaawa za kafiyu buli omu n'adda ewuwe .
Source