ABANTU abatannategeerekeka ababadde n'emmundu, balumbye amaka g'omutuuze e Busega mu kiro ekikeesezza Ssande ne bamuwamba nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire.
Haji Asuman Ssemakula eyawambiddwa, munnakibiina wa FDC era mutuuze mu zooni ya Kibumbiro B e Busega.
Yaliko ddereeva wa Dr. Kiiza Besigye nga kati y'abadde ssentebe w'olukiiko olunoonyeza meeya wa Lubaga, Joyce Nabbosa Sebuggwaawo akalulu era ye ssentebe wa FDC e Busega.
Zam Zam Namusoke ayambako ku mirimu mu maka ga Ssemakula agamba nti, zaabadde ssaawa nga 6.00 ez'ekiro ky'Olw'omukaaga, yagenze okuwulira nga waliwo abapangisa abakuba enduulu kwe kuggulawo kateni y'eddirisa alabe ogubadde.
‘‘Nagenze okulaba ng'omusajja eyeesabise yenna nga n'amaaso talabika ng'aliko omu ku bapangisa gw'akwatidde wansi ku ttaka ng'amusonzeemu emmundu. Amangu ago olwandabye nga nzigudde eddirisa oli n'amuvaako n'angamba nti nzigulewo oluggi oba ssi kyo ye agenda kweggulirawo.
Yabadde ansonzeemu emmundu, mu kutya okungi ne nzigulawo oluggi nga ndowooza bagenda kunkuba essasi. Bangambye nti; " Twagala Asuman… aliwa?" Naleekaanye nga bwe mpita Haji nti, abaserikale batulumbye. Haji olwawulidde nga ndaajana, n'aggulawo oluggi okulaba ogubadde ne bamukwata.
Yabadde mu kapale akatono k'asulamu ne bamutwala bwe batyo tebaamukkiriza na kwambala. Yagenze ababuuza kiki ekimutwaza era bamwagaza ki nga tebamunyega.
Baabadde mu mmotoka eyeefaananyiriza takisi nga njeru mu langi ne batugamba nti tetugeza ne tufuluma wabweru bwe batyo ne bamutwala n'essimu ze zonna ne bazitwala tewali kirala kye baatutte.
Fatumah Nansimbi, muwala wa Haji Ssemakula; agamba maama waffe yafa nga waliwo omukyala abeera awaka okuyamba ku mirimu eyatukubidde essimu ekiro nti taata waliwo abantu abamuwambye.
Ekiro ekyo twakubidde poliisi y'e Kibumbiro naye n'omukyala agitwala n'agamba nti yagenda kuzaala taliiwo, naye nga poliisi y'ekitundu ne LC bonna tebategeezeddwaako.
Yagambye nti baakedde ku muyiggo era poiisi y'e Nateete ne yeegaana nti tebamulina ne batusindika ku poliisi enkulu e Katwe kyokka nabo ne bamwegaana.
Ku poliisi e Nateete, eno twasanzeeyo ASP Gordon Asiimwe eyabaddewo ng'omukulu aliwo ku ssaawa eyo, yatutegeezezza nti nabo babiwuliddeko nti, naye kakubireko bakama baabwe mu bitongole ebikuumaddembe balabe.
Tweyongeddeyo ku poliisi e Katwe ne batusindika mu Room 15 etuulwamu akola ku kulondoola emisango, (CIO) owa Kampala South ayitibwa Kisembo, naatugamba ensonga yagiwuliddeko nti naye k'atwale okunoonyereza mu bakama be ayongere okumanya ekituufu.
Tweyongeddeyo ku SIU e Kireka nabo ne batugamba tebamulina kyokka nga waliwo abatubbiddeko nti baawuliddeko ku linnya eryo nga bamuleese.
Kati ekituufu kikyatulemye okutegeera, tusaba ebitongole ebikuumaddembe bwe biba nga byebirina omuntu waffe bitubuulire gy'ali oba tebimulina bitwegatteko tumunoonye tulabe ng'azuulibwa.
Monday, December 28, 2020
Abemmundu bawambye omutuuze w'e Busega
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...