Thursday, December 10, 2020

Abooluganda lw'omukuumi wa Bobi Wine baddukidde mu kkooti

Abooluganda lw'omukuumi wa Bobi Wine baddukidde mu kkooti

ABOOLUGANDA  lw'omukuumi  wa Bobi Wine, Nobert Ariho  eyakwatibwa  baddukidde mu kkooti e Nakawa nga baagala ewalirize ekitongole kya SIU e Kireka kimuyimbule ne banne  bwe baakwatibwa.

Looya Wameli eyakulembeddemu abooluganda lwa Ariho.

Nga bakulembeddwamu  looya Anthony  Wameli  okusaba kuno baakututte mu kkooti  y'omulamuzi Phionah Angura kyokka  tasobodde kubayamba  olw'okubeera n'olukiiko lw'abalamuzi  lwabadde akubiriza  n'abasaba baddeyo ku Lwokutaano.

Mu kiwandiiko  kino bagamba nti Ariho, Ivan Ssentamu ne Moses Baraza baakwatibwa  e Mbale ku ssaawa 1 ey'oku makya nga December 04, 2020. Baasooka  kubasibira ku poliisi y'e Mbale gye baabajja ne batwalibwa ku  poliisi y'e Tororo nayo gye bajjibwa ne batwalibwa e Kireka ku SIU nga n'okutuusa kati tebatwalibwanga mu kkooti.  Wameli agamba nti kino kityoboola eddembe lyabwe eribaweebwa Ssemateeka  kubanga kati ziweze essaawa 48 naye tebannaba kutwalibwa mu kkooti.

Wabula  abooluganda  lw'abantu bano baasoose kulowooza nti  bagenda kubatwala mu kkooti y'e Nakawa  gye beeyiye mu bungi kyokka ne batalabikako.  Wameli yavumiridde ekya poliisi okutwala Ariho mu maka ge ne bagaaza nga balooya be tebaliiwo. 

Waliwo ebigambibwa nti Ariho baamukwata ku byekuusa ku kacupa ka ttiyaggaasi akakubibwa Bobi Wine bwe yali e Kayunga  ng'anoonya.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts