
ABAAKWATIBWA n'enkoofiira emmyufu eza People Power basimbiddwa mu kkooti y'amagye e Makindye ne bavunaanibwa okusangibwa n'ebintu ebyefanaanyiriza ebya UPDF ng'ate tebalina lukusa kubeera nabyo.

Bano kuliko: Fred Nkuruziza 42, omugoba wa boodabooda e Kyankwanzi, Shafik Wasinde 19, baamukwatira Busega ne Stephen Sserwanga 19. Ye Alex Kadyama tasomeddwa musango kubanga embeera ye abadde ng'aliko ekikyamu ku mutwe.

Bano baabadde mu kkooti ya Lt. Gen Andrew Gutti. Emisango baagyegaanyi ne basindikibwa mu kkomera e Kitalya. Abantu bano baakwatibwa mu kwekalakaasa okwaliwo nga November 18, poliisi bwe yakwata Bobi Wine avuganya ku bwapulezidenti mu bitundu by'e Luuka mu Busoga gye yali agenze okunoonya akalulu ne bamusibira e Nalufenya.
Gutti alagidde Kadyama atwalibwe bamukebere embeera y'omutwe gwe olwo akomewo mu kkooti nga December 21, ne banne asomerwe emisango egimuvunaanibwa.