Saturday, December 26, 2020

Abuliddwa ssente z'aliisa abaana ne yeesala obulago

Abuliddwa ssente z'aliisa abaana ne yeesala obulago

ABATUUZE ku kyalo Lwaddwa A e Matugga mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti y'e Wakiso bawuniikiridde omusajja bwavudde mu mbeera ne yeesala obulago n'okwefumita ebiso mu lubuto. Entabwe evudde ku bigambibwa nti abadde talina kyaliisa baana be.

Abdul Bongomin 45, omutuuze w'e Matugga ye yeesaze obulago ng'agamba nti embeera emunyize nnyo n'atuuka n'okubulwa ssente z'okuliisa abaana be nga kirabikanga Mukama Katonda eyamwerabira ng'ate banne alaba bali bulungi.

Kyokka abatuuze baagambye nti omusajja ono kirabika abadde n'ebizibu ebisukka ku ky'okuliisa abaana ebyamuviiriddeko okwetta. Baamusanze atandise okwesala ne bamuggyako ekambe kyokka kino tekyamumalidde n'agenda n'agula akambe akalala ne yeefumita olubuto n'okwesala obulago.

Abatuuze baayise poliisi eyazze ne kabangali okumutwala mu ddwaaliro e Mulago. Amyuka Ssentebe w'ekitundu kino, Samuel Ssewagudde ategeezezza nti omusajja ono yandiba ng'alina ebizibu kubanga omuntu ayagala obulamu tasobola kwesala bwatyo n'asaba poliisi okukola okunoonyereza.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts