Tuesday, December 22, 2020

Akubye mukazi we ennyondo naye ne yeetuga

Akubye mukazi we ennyondo naye ne yeetuga

DDEREEVA w'ekitongole kya Kaliisoliiso wa Gavumenti kigambibwa nti asowaganye ne mukazi we n'akwata ennyondo n'agimukuba ku mutwe naye ne yeeyimbamu omuguwa ne yeetuga ng'alowooza nti omukazi  afudde.

Abakungubazi mu maka ga Elogu e Bulindo.

Ettemu lino libadde Bulindo mu munisipaali y'e Kira mu disitulikiti y'e Wakiso, Joseph Elogu 50 bwe yakutte ennyondo n'agikuba mukazi we Florence Nyakake. Kigambibwa nti baasoose kuyomba n'okulwana. 

Charles Gitta omuvuzi wa bboodabbooda yategeezezza nti Nyakake yamukubidde essimu ku ssaawa 9:00 ez'ekiro n'amutegeeza nga bwawulira obubi nga n'omusaayi gumuggwaamu kyokka akubidde poliisi naye tayambiddwa.

Gitta eyatutte Nyakake mu ddwaaliro.

Ggita agamba nti yayanguye okutuukayo ne bayamba Nyakake okumutwala mu ddwaaliro wabula Elogu yabadde mu ddiiro ku muguwa kwe yeetugidde era tebaamukutteko.  

Omulambo gwa Elogu gwatwaliddwa e Kalaki mu disitulikiti y'e Soroti gy'agenda okuziikibwa  ate  Nyakake ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Victoria hospital e Bukoto .

Omumyuka w'omwogezi wa Poliisi owa Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire akakasiza ekikolwa kino n'agamba nti Elogu nga tannab kukuba mukazi we alina mikwano gye be yasindikidde obubaka ng'abasaba bamusonyiwe ku kye yabade agenda okukola n'agamba nti yakikoze lwa mukazi we.

Omu ku booluganda lwa Elogu yawakanyizza okufa kwe nti yeetuze n'agamba nti waliwo omusaayi gwe baamusanzeeko ku kiwato ate n'engeri omulambo gye baagusanzeemu gw'abade tegulaga nti yeetuze.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts