
ABASUUBUZI babadde batereka ssente mu sacco basobeddwa bwe bagenze okuzigabana abadde azitereka n'abaddukako.
Abaakwatiddwa kuliko; Angel Doreen Nampeera 27 ow'e Nammere ne Samuel Mwesigwa 34 ow'e Kisaasi ng'abasuubuzi abeegattira mu sacco ya Kaleerwe Tomato Traders Sacco babalumirizza okubaako kye bamaanyi ku kubulawo kwa mukama waabwe, Richard Muyingo, abadde akulira sacco eno .
Aggery Kisadda yagambye nti abasuubuzi bawera 1,000 n'omusobyo abali mu sacco eno era nga kiteeberezebwa nti ssente zibadde zisukka mu 300.
Kino mu kusooka kyali kibiina Muyingo n'akiwandiisa n'ekifuuka sacco nga balina akawunta mu bbanka ya Pride gye zibadde ziterekebwa nga buli musuubuzi abadde atereka okusinziira ku busobozi bwe olwo ne bazigabana ku nkomerero y'omwaka nga December 20 .
Yagasseeko nti olunaku lwe baabadde balina okuzigabanirako Muyingo yabagambye ssente bajja kuzifuna January wa 2021 ng'azitaddemu amagoba abamu ku basuubuzi baakiwakanyizza n'abemululako nadduka , baagenze ku poliisi eyawaliriziddwa okukwata Angel Doreen Nampeera ne Samuel Mwesigwa ababadde bazisolooza.
Jessica Namulindwa yategeezezza nti okusinziira ku mateeka agabatwala batandika okutereka nga 1 November ne bakomekkerezza nga October 31 omwaka omulala, olwo ssente nga balina kuzigabana nga 20 December nga
Muyingo buli mwaka buli musuubuzi yamuggyako 50,000/ ez'okubaterekeera nga baabadde bamaze okuzimusasula .
Nampeera ne Mwesigwa baategeezezza nti eky'okudduka kwa mukama waabwe tebalina kye bakumaanyiiko mbu bbo gwabwe gubadde gwa kusoloozza ssente ng'obuvunaanyizibwa obulala bwa Muyingo.
Miriam Ato akulira bambega ku poliisi y'oku Kaleerwe yategeezezza nti baakafuna abantu 20 n'omusobyo abalumirizza Muyingo okubulankanya ssente zaabwe , yagasseeko nti baagenze mu bbanka ne bakebera ku Akawunti nga waliyo 170,000/ zokka nga yasemba okuggyayo ssente ennyingi nga December 8 .
Yayongeddeko nti batandise okumuyiga ng'abakozi be abaakwatiddwa bayamba ku poliisi mu kunoonyereza.
Omusango guli ku Fayiro nnamba; SD REF:19/20/12/2020 Bukedde ageezezzako okukubira Muyingo okubaako ky'annyonyola nga takwata ssimu.