Wednesday, December 16, 2020

Amuriat akyeremye okweyanjula mu EC

Amuriat akyeremye okweyanjula mu EC

AVUGANYA ku bwapulezidenti ku bendera ya FDC, Patrick Oboi Amuriat, yeerayiridde obutalinnya kigere ku kakiiko ka byakulonda gye yayitiddwa okwennyonnyolako ku kimuviirako okukuba enkung'aana ezirimu abantu abangi.

Yagambye nti ssentebe w'akakiiko kano Omulamuzi Simon Byabakama, asaanye
asooke ayite Pulezidenti Yoweri Museveni, gw'agamba nti naye akung'aanya abantu kyokka tamunyega kigambo kyonna.

Amuriat, yawadde akakiiko k'ebyokulonda amagezi bamusisinkane gy'akubira kampeyini ze mu kifo ky'okumumalira obudde ku nsonga gy'agamba nti teriimu ggumba.

Yategeezezza nti, akakiiko kasaana kakkirize ababaka be yakasindikidde okumukiikirira
okuli n'omu ku bannamateeka baabwe Julius Galisonga oba si ekyo, bakozese tekinologiya boogere naye nga bayita mu nkola eya ‘Zoom.'

Yalumbye akakiiko k'ebyokulonda nti kali mu kwekangabiriza nga kakimussaako
nti akung'aanya abantu abangi kyokka nga bakimanyi bulungi nti obuvunaanyizibwa bw'okufunira abantu masiki bwa gavumenti bw'etaatuukiriza wadde nga ssente nnyingi ezaayisibwa ku nsonga eno.

Yagasseeko nti emu ku nsonga eviirako abantu okukung'aana nga bamulabye kwe kuba ng'abafaanana nga n'abamu baba baagala okumulaba bw'atambuza ebigere olwa
Poliisi okumubbako engatto ze, ate abandi nga baagala okuwulira by'abagamba n'okumuloopera ebizibu byabwe.

"Ekigendererwa ky'akakiiko okutuyita okweyanjula gye bali sinnakitegeera bulungi kubanga si nze ayita abantu okujja era bwe baba bazze bansuubira ng'eyeesimbyewo okubagoba ate nga be balonzi be tunoonya?" Amuriat bwe yabuuzizza.

Oluvannyuma lw'okumaliriza okuwenja obuwagizi mu bitundu by'e Karamoja ku Mmande, Amuriat eggulo yabitaddemu engatto n'atyolekera ebitundu bya Busoga
by'ataamaliriza.

Yatandikidde mu disitulikiti y'e Namutumba ne Luuka, era nga leero ku Lwokusatu, asuubirwa Namayingo ne mu disitulikiti y'e Mayuge.

Yabajjukizza nti ssinga bamulonda, y'agenda okusooka okuba Pulezidenti asookedde ddala ava mu bitundu by'obuvanjuba bwa Uganda.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts