ABAKULEMBEZE mu Bwakabaka bw'amawanga gonna agali mu Uganda basisinkanye okutema empenda ku ngeri gye basobola okuzzaawo obuwangwa bwabwe n'okubamanyisa abalala nga bayita mu kutegeka ekivvulu kiyite ‘Cultural Gala' esuubirwa okubaawo nga December 26, 2020 okugatta mu mawanga gonna.
Bano baayise mu kibiina kyabwe ekiyitibwa ‘Cultural Bonanza' nga bakulembeddwamu Edris Ssebutinde. Baagambye balina n'ekirowoozo ky'okutuuza Bakabaka bonna abali mu Uganda balyeko ekyeggulo ku mmeeza emu n'abantu ab'enjawulo be bakulembera kisobozese abantu okwongera okumanya ebibakwatako.
Olukung'aana luno lwabadde ku Pearl of Africa Hotel mu Kampala nga lwetabiddwaamu amawanga agasoba mu kkumi agakola Obwakabaka bwonna mu Uganda.
Ssebutinde yategeezezza nti balina ekigendererwa ky'okuzuukusa obuwangwa bwonna obwali bw'azaawa ssaako n'okubusomesa abo ababadde tebabumanyi.
Ye Joy Catherine Byenkya omukwanaganya w'emirimu mu kibiina kino yategeezezza nti balina ekigendererwa ky'omanyisa n'okuyigiriza abantu naddala abaana obuwangwa n'empisa naddala mu nnyambala, enfumba y'emmere, okuyigga n'ebirala.