
Poliisi ekubye omukka ogubalagala n'amasasi mu bawagizi ba Robert Kyagulanyi nga bagezaako okumutangira okugenda e Lwengo.
Mu kanyolagano kano mwe bakubidde ne Ashraf Kasirye munnamawulire wa Ghetto Media amasasi, Ali Mivule owa NTV ne Daniel Lutaaya owa NBS nabo balumiziddwa.
Ashraf Kasirye ali mu mbeera embi aggyiddwa mu ddwaaliro e Mulago- Masaka n'addusibwa e Kampala okufuna obujjanjabi obusingawo.