
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga afulumizza ekiwandiiko n'ategeeza nti munnamawulire wa Ghetto TV Ashraf Kasirye akubiddwa akakeke ka ttiyaggaasi ku liiso erya kkono naye si ssasi ng'engambo bwe zibadde zibuungesebwa.
Yategeezezza nti waabaddewo obulumbaganyi ku bapoliisi baabwe n'abawagizi ba NUP e Kyabakuza nga bagezaako okuwakanya gye baabadde babayisa okugenda mu disitulikiti y'e Kyengera. Mu kanyolagano kano bannamawulire balumiziddwa omwabadde ne Kasirye.
Enanga agamba nti bannamawulire bapoliisi baabakanye dda n'omulimu gw'okuzuula ebisingawo.
Tusiima omulimu ogukolebwa bannamawulire abaweereza ebikwata ku kampeyini era tusuubiza okubakuuma obulungi.
Tusaba omuntu yenna eyakutte ebyabaddewo okutuwa obutambi buno ku CID twongere okunoonyereza ku nsonga eno.
Kasirye aggyiddwa mu ddwaaliro e Masaka n'addusibwa e Kampala gy'ajjanjabirwa.