Sunday, December 27, 2020

AS Kigali tujja kugiggyamu - KCCA FC

AS Kigali tujja kugiggyamu - KCCA FC

CAF Confederations Cup (Jan. 6)
KCCA - AS Kigali e Lugogo

MORLEY Byekwaso, amyuka omutendesi wa KCCA FC, agumizza abawagizi nti AS Kigali bagenda kugiwanduliramu e Lugogo.

Mu nsiike eno esuubirwa okuba ey'okufa n'okuwona, KCCA yeetaaga obuwanguzi bwa ggoolo 3-0 okugenda ku luzannya oluddako, Byekwaso ky'agamba nti kisobokera ddala kuba ebizibu bijja kuba biweddewo.

Mu gwasoose e Rwanda, KCCA yalemeddwa okuweza abazannyi 15, CAF, ekibiina ekivunaanyizibwa ku mupiira mu Afrika, be kiragira ttiimu okubeera nabo ng'omupiira tegunnatandika.

KCCA yabadde n'abazannyi 14, CAF omupiira n'egusazaamu obubonero n'ebuwa bannyinimu aba AS Kigali.

Ekiwandiiko CAF kye yafulumizza, kyalaze nti ttiimu yonna mu mpaka zino okuzannya omupiira erina okubeera n'abazannyi abatandika mu kisaawe 11 n'abatuula ku katebe 4, (be bazannyi 15). KCCA yagenda n'abazannyi 15 nga bonna baakeberwa corona era nga bonna balamu, wabula bwe baatuuse e Rwanda ne baddamu okukeberebwa ng'omu mulwadde.

" We tunaazannyira omupiira gw'okuddihhana, abazannyi baffe bonna tubasuubira okubaawo, era tugenda kukola ekisoboka okuwangula omupiira guno," Byekwaso, eyabadde mu mitambo gya ttiimu eno, bwe yategeezezza.

Abazannyi 10 n'abatendesi Mike Mutebi, Jackson Magera ne Moses Oloya, tebaatambula na ttiimu lwa corona.

KCCA yakomyewo ku Lwokuna ekiro ate eggulo ku Lwomukaaga, abazannyi n'abatendesi bonna baabadde balina okuddamu okukeberebwa leero ku Ssande, baddemu okutendekebwa.

KCCA FC eruubirira kuwangulira ku ggoolo 3-0, wabula mu myaka etaano, teri ttiimu gye yali ezikubidde Lugogo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts