GGOOLO ya Arsenal eyookubiri nga bawangula Chelsea, (3-1), yavudde mu kisobyo ku N'Golo Kante ku Bukayo Saka.
Engeri gye yamukubyemu, kino ekisobyo kyabadde kya 'direct free kick', ekitegeeza nti asimula omupiira akkirizibwa okugukuba obutereevu mu ggoolo nga tewali agukoonyeeko, ggoolo n'ebalwa.
Ddiifiri Michael Oliver yagabidde Arsenal free kick, wabula n'adda mu kutereeza akasenge ka ttiimu ya Chelsea. Granit Xhaka yasimudde omupiira n'agukuba mu katimba nga ddiifiri tannamukkiriza, ggoolo n'agigaana. Ekyomukisa, free kick bwe yaddiddwaamu, Xhaka era yagiteebye.
Waliwo olumu ddiifiri lw'akkiriza ttiimu okusimula 'free kick' mu bwangu, bw'aba tannatandika kutereeza kasenge k'abazibizi. Bw'atandika okukategeka, kitegeeza nti obwongo bw'abazibizi bonna tebuli mu kuzibira, wabula buba ku ye. Ne ddiifiri aba tatunuulidde nsimula ya mupiira era aba tannagenda mu kifo kituufu.
Mu kutereeza akasenge, ddiifiri alina okulaga abazannyi akabonero ke bamanyi kati, nti balina okumulindako okutuusa lw'anaabawa olukusa ng'afuuwa ffirimbi. Abalaga ffirimbi nga bw'agikoonako, ekitegeeza nti munninde okutuusa nga ngifuuye. Olwo lwe lukusa.
Awatali lukusa, naddala nga ggoolo enywedde, 'free kick' eddibwamu. Olumu ddiifiri asobola okulaga kaadi eya kyenvu eri omuzannyi asimudde nga tamuwadde lukusa.
Akasenge ddiifiri alina kukategeka mu buwanvu bwa mmita 9-15 okuva ku mupiira.
Wabula 'free kick' esimulwa nga tewali kasenge, esobola okusimulwa mu bwangu.
Enjawulo eri nti, omuzibizi asobola okuva okumpi ddala naye nga takkirizibwa kutaataaganya agisuimula. Kyokka akkirizibwa 'okugwa' mu mupiira ogwo nga gumaze okusimulwa n'agutwala. Omuzibizi ataataaganya omuzannyi asimula 'free kick', alagibwa kaadi eya kyenvu. Teri muzannyi akkirizibwa kusimula 'free kick', ddiifiri ng'akyayogera n'omuzannyi yenna.
Omuzannyi okusimula 'indirect free kick' mu katimba, omupiira ne gunywa nga tewali agukoonyeeko, ggoolo tebalwa, basimula 'ggoolo kick.
Ate omuzibizi okwekuba ggoolo ng'eva mu 'free kick' ye, nga tewali akoonye ku mupiira, eyo nayo ggoolo tebalwa, ttiimu bagiwa kkoona. Oyo omuzannyi alabika nga eyeteebye.
Amateeka g'omupiira tegakkiriza ttiimu ekoze kisobyo, ate kufuna kirungi mu kisobyo. Free kick evuddemu ggoolo eba ebonereza ttiimu.
Noolwekyo, asimula free kick bw'akuba omupiira mu ggoolo ye ne gunywa nga nga tewali mulala agukoonyeeko, ggoolo tebalwa. Waakiri ttiimu endala efunamu ekkoona naye nga si ggoolo eyinza n'okuvaamu obuwanguzi.
alitomusange12@gmail.com 0772624258
Tuesday, December 29, 2020
Asimula 'free kick' bw'akuba omupiira mu katimba ke ggoolo esazibwamu
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...