Tuesday, December 29, 2020

Dr. Lulume Bayiga ayimbuddwa

Dr. Lulume Bayiga ayimbuddwa

Avuganya ku kifo ky'omubaka wa Buikwe South ku kaadi ya DP, Dr. Michael Lulume Bayiga kyaddaaki eyimbuddwa okuva mu kadduukulu ka poliisi e Lugazi gye yasuze ne banne babiri oluvannyuma lw'okukwatibwa mu kiro ekikeesezza olwaleero ku Lwokubiri.

Lulume okukwatibwa yabadde ava mu lumbe e Kiyindi ku ssaawa nga 3:00 ez'ekiro ng'essaawa z'okutambula ziweddeko. Yatwaliddwa ku poliisi ne bamuggulako omusango gw'okujeemera ebiragiro bya kafiyu.

Leero ayimbuddwa ku kakalu ka poliisi. Egaanye okubaako kyetangaaza kun nsonga eno.

Ono ayimbuddwa Ku kakalu ka poliisi wabula nga poliisi eganye okubako kyetagaza kunsonga eno.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts