Tuesday, December 29, 2020

Asonze ku batunda ekisaawe ky'e Kakindu

Asonze ku batunda ekisaawe ky'e Kakindu

WABALUSEEWO okusika omuguwa mu bakulembeze b'e Jinja ku kisaawe ky'e Kakindu.
Ssentebe wa Jinja Central Division, Mubarak Kirunda, alumiriza abamu ku bakkansala ba disitulikiti, okwekobaana okuguza Abayindi ekisaawe kino, nga babawa liizi ya myaka 99, wabula n'agamba nti kino tagenda kukikkiriza.

"Kikafuuwe okukkiriza ekisaawe kino okugenda kuba kye kimu ku bifo Jinja bye yasigaza okwolesa ebitone omuli omupiira n'ebirala," Kirunda bwe yagambye.

Ettaka lino liriko ekisaawe ky'omupiira, ekya volleyball, ggiimu, etterekero ly'ebitabo, ofiisi za bannamawulire, n'ebintu ebirala.

Robert Tenywa, abadde ssentebe wa Kakindu Village okuva mu 1996, yagambye nti alwanye entalo nnyingi n'abantu ab'enjawulo ababadde bagulirira abakulembeze mu Jinja okusaanyaawo ebintu ebibayamba, nga ku luno olutalo waakulutuusa ne mu bannabyamizannyo.

Ye Morrison Bizitu, omwogezi wa Jinja Ccentral Division, yagambye nti teri muntu yenna akkirizibwa kutwala kisaawe kino kuba omusango gukyali mu kkooti.

Abasinga olunwe balutadde ku Town Clerk, Ambrose Ocen, wabula byonna abyegaana era agamba nti bamusibako matu ga mbuzi kumuliisa ngo.

"Tukimanyi nti omusango gw'okutwala ekisaawe kino guli mu kkooti. Abagamba nti mbadde nteesa n'Abayindi baleete obujulizi obulaga nga bwe twakkaanyizza",Ocen bwe yeewozezzaako.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts