ABATUUZE b'omu Kazo Central zooni 2 bafunye akamwenyunyu oluvannyuma lwa mutuuze munnaabwe okubawa ente 2 okubayisa mu Ssekukkulu.
Baategeezezza nti ekirwadde kya COVID 19, ekyavaako omuggalo mu ggwanga kibakosezza nnyo nga n'abamu tebakyalina kye bakola.
Okubazzaamu essuubi, Gerald Muhumuuza abawadde ente bbiri zaayisizza mu ssentebe waabwe Nathan Bogere Pakakya okwenaazaako ennaku y'okubulwa emirimu n'okufuna ku kanyama bawuutemu ssupu ku Ssekukkulu eno.
Bogere ategeezezza nti abantu babadde basiiba ku ofiisi ye olw'obutaba na kyakulya kyokka kati ssentebe abataasizza n'abawa ennyama ya Ssekukkulu kwe banaatandikira ng'ennaku enkulu ziwedde.
Source