Friday, December 25, 2020

Gen. Katumba agabudde abakadde ebya ssava

Gen. Katumba agabudde abakadde ebya ssava

Minisita w'eby'entambula n'emirimu, Gen. Edward Katumba Wamala agabudde abakadde ebya ssava bya ssekukkulu nabo basobole okusanyukako mu biseera bino eby'ennaku enkuluu.

Okusinziira ku muyambi wa Gen. Katumba nga ye Cadre Juma Were akiikiridde mukamawe, abakadde abaaganyuddwa mu nteekateeka eno bali mu 200 nga bava mu munisipaali y'e Mukono.

Were agambye nti enteekateeka eno ezze ebeerawo okumala emyaka kati mwenda.

Abakadde nga basimbye okufuna ebintu ebibaweereddwa Gen. Katumba Wamala.

Abakadde bafunye ennyama, omuceere, ssukaali, omunnyo, ssabbuuni, emigaati n'ebirala. Bano bakungaanidde ku Jobia Hotel e Mukono.

Were mu bubaka bwa Gen. Katumba bw'atuusizza ku bakadde abakalaatidde okwekuuma ekirwadde kya Corona Virus nga tebava waka n'okugoberera amateeka amalala ag'ateekebwawo Minisitule y'eby'obulamu gamba ng'okunaaba mu ngalo n'okwewa amabanga.

"Mu nteekateeka eno, tunonyaayo abakadde abatalina mwasirizi ng'oba olyawo ssinga tabadde Gen. Katumba n'obuyambi buno, n'ebya kulisimaasi tebandibitegedde. Abamu ku bano bazaala abaana ne bafa ate ne babalekera abazzukulu ate abalala abaana b'abasuulawo tebakyabafaako," bw'agambye.

Omu ku bakadde ng'atambulira na ku miggo ng'atwala ettu erimuweereddwa Gen. Katumba.

Maria Nambi abeera ku kyalo kya Colline mu kibuga Mukono agambye nti abaana be yazaala b'afa ng'era amazima abadde talina ky'agenda kulya na kuliisa baana ku lunaku luno.

Hadija Nambalirwa omutuuze w'e Nyenje mu divizoni y'e Goma agambye nti ku kyalo baabajeeyo abakadde bana nga guno gwe mulundi gwe ogusoose okuganyulwa mu nteekateeka eno ku myaka 73 gy'alina.

Wilberforce Magera kkansala w'abakadde mu munisipaali y'e Mukono agambye nti enteekateeka eno Katumba gy'akola nnene nnyo nga ku mulundi guno ne gavumenti teyasobodde kubaako bantu b'ewa bya Ssekukkulu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts