Patrick Oboi Amuriat akuyeze abaana e Moroto bamugambire bazadde baabwe bamuyiire obululu asobole okumegga banne ku bwapulezidenti mu kulonda okujja. Era abakubirizza okwagala ennyo okusoma basobole okuweereza ensi yaabwe ekule wadde embeera gye balimu si yeeyeeyagaza.
Kiddiridde Amuriat okusanga ekibinja ky'Abakaramoja nga kikung'aanye bateesa ku ngeri gye bagenda okununulamu ente zaabwe ezaababbiddwaako bannaabwe okuva e Moroto.
Yabagumizza olw'embeera gye bayitamu n'abategeeza nti bwe bamulonda ku bwapulezidenti, ebizibu nga bino waakubinogera eddagala.Yabasanze mu disitulikiti y'e Kotido e Nakapelimoru.