Ababazzi b'eNsambya abeegatira mu kibiina kya Nsambya carpenters, Joinary & craft Training Agency basiimye Pulezidenti Museveni olw'okutuukiriza ekisuubizo kye eky'okubagulira ettaka n'okubazinbira.
Okwongera bino baabadde balambula omulimu gw'okuzimba ekifo kyabwe wegutuuse nga bakulembeddwamu Ssentebe waabwe Sadam Moses Muleke. Ettaka lino lisangibwa Mutungo ku luguudo lwa Ntebbe Express way nga liweezako yiika mukaaga.
Muleke ategeezezza oluvannyuma lwa UNRA okubategeza nga bweyetaaga ekibangirizi webakolera okuyisawo oluguudo lwa Fly over baasaba Pulezidenti okubagulira ettaka era ng'ayita mu muyambi Ruth Nakyobe basobole okufuna ettaka lino okuli pulojeekiti ya carpentry Village nga kuno kugenda kuberako newebokyere ebyuma.
Wabula batadde abakulira kkampuni ya Glexi_Home eri ku mulimu gwokuzimba ku nninga banyonyole lwaki tewali ekipande kiraga pulaani ya pulojeekiti eri okuzimbibwa. Rogers Tumwekwatse akulira abakozi abagumiza nagamba nti ebintu byonna ebikolebwa biri mu mateeka era mu kiseera kitono ekipande kino kyakuwanikibwa ng'omulimu gusubirwa okuba nga guwedde mu July w'omwaka ogujja.