KATIKKIRO wa Buganda, Bannaddiini n'abakulembeze ab'enjawulo boogedde ku kwogera kwa Pulezidenti Museveni ku kwekalakaasa omwafiiridde abantu 54.
Bagambye tebawagira kwonoona bintu, okukuma omuliro mu nguudo oba okutta abantu naye baagala amateeka gakole kyenkanyi ku ba - NRM n'oludda oluvuganya.
Museveni yayogedde eri eggwanga ku Ssande n'ategeeza nti famire ezaafiirwa abantu mu kwekalakaasa gavumenti egenda kubaliyirira.
Yalabudde abawagizi ba Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) ne Patrick Amuriat owa FDC abeetwala nti tebakwatibwako olwo poliisi olwabakutte n'etanula okwekalakaasa.
Baanukudde Museveni ku bantu abattiddwa mu kwekalakaasa.
MIRIA MATEMBE, MUNNAMATEEKA, YALI MUBAKA MU PALAMENTI ERA YALIKO MINISITA W'EMPISA N'OBUNTUBULAMU:
Ekyannumye saawulidde bwe yeetonda. Okusuubiza okuliyirira abafiiriddwa abaabwe kubeera kwongera munnyo mu kiwundu kubanga tewali muwendo gwa ssente guyinza kusasula bulumi abantu bwe bayitamu. Mu kifo ky'okunenya poliisi n'amagye agatta abantu ate yazze mu kunenya abaafa n'okunyiiza abeng'anda zaabwe okusajjula ebiwundu bye balina ku mwoyo. Waliwo musajja mukulu eyava e Sheema okujja e Kampala ne bamutta, omuntu oyo onaamatiza otya famire ye nti kitaabwe wamutta yeekalakaasa! Abaafudde toyinza kubasasula kuba omufu tolina ngeri gy'omuliyirira olw'obulamu bwe.
Yalabudde nti tasuubira bantu kuddamu kwegugunga era yenna anaakikola ajja kwejjusa kubanga afunye lipoota okuva mu bakessi nti bano bakolagana n'Abazungu ababavujjirira ssente ze bawa abavubuka beekalakaase batabangule Uganda.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yagambye: Tetuwagira bakola ffujjo, aboonoona ebintu, abakoleeza omuliro oba abalumba abalala olw'endowooza zaabwe ez'ebyobufuzi oba ensi yaabwe.
Kyokka obuzibu bwonna butandikira mu kyekubiira alabikira mu ngeri abeebyokwerinda gye bakwasisa amateeka. Amateeka ge bagamba nti Robert Kyagulanyi yagamenya twalaba aba NRM bangi nga bagamenya mu kamyufu naye tobaggalira. Noolwekyo bwe tuba abookuvumula ekizibu kino, eddembe lya buli omu lisaana okussibwamu ekitiibwa.
OMUSUMBA JOHN BAPTIST KAGGWA OW'E MASAKA EYAWUMMULA:
Ensonga y'okuliyirira nzibu nnyo nze ndowooza abantu bonna abaafiirwa abaabwe bandibadde baliyirirwa kubanga baafa kukubwa masasi ate emmundu zibeera za gavumenti.
Okwekalakaasa ddembe lya buli muntu erimuweebwa ssemateeka mpozzi okwegugunga okulimu okukola effujjo kye kikyamu. Kye ndaba ekyandikoleddwa kwe kunoonya ensibuko y'okwekalakaasa ekyo ne tukisalira amagezi.
Mu kiseera ky'omuggalo gwa Corona ng'atandika waliwo omukulu kye yayogera nti oyo alemeddwa okutuukiriza amateeka bamukube ku nnyama ndowooza kye baabadde bateeka mu nkola era ne minisita Gen. Elly Tumwine nnamulabye ng'avaayo okukiggumiza.
Kabaka nga bwe yagambye wateekebwewo akakiiko okunoonyereza ku bantu abattibwa, kisaana kikolebwe.
Bwe bagamba nti abeekalakaasa baali bakiteeseteese ekyo kikyamu, kubanga tewali yali awulidde nga bakirangirira oba kyabaluka kw'olwo nga bakutte Kyagulanyi. Bagamba nti abaali beekalakaasa baalina emmundu, ziri ludda wa? Njagala bazitulage oba batulage obujulizi? Era bo baamanya batya nti Kyagulanyi agenda kukwatibwa e Luuka?
Amasasi ge bagamba nti gaawaba ne gatta abantu, baamanya batya nti gaali gawabye? Nze sikwata mmundu naye nsuubira nti oyo akuba essasi libeerako ne kye liruubirira okukuba.
DR. BISHOP JOSHUA LWERE, AKULIRA EKIBIINA EKIGATTA ABALOKOLE EKYA NATIONAL FELLOWSHIP OF BORN-AGAIN PENTECOSTAL CHURCHES (NFBPC):
Obulamu bw'omuntu tosobola kubugeraageranya ku kintu kyonna, wabula ffe twenyumiriza mu kya Pulezidenti okuvaayo n'abaako by'ayogera. Kubanga kye tubadde tulwanirira wabeerewo ekiragibwa nti ekyakolebwa kikyamu, obulamu bw'omuntu tebuteekwa kugenda bwe butyo.
Twagala okunoonyereza kugende mu maaso n'abo abatta abantu babonerezebwe. Okuliyirira abantu kabonero akalaga nti waliwo ekikoleddwa wadde obulamu tebuzzikawo.
KATIKKIRO WA BUNYORO ANDREW BYAKUTAGA:
Obulamu bw'omuntu tolina muwendo gw'oyinza kubusasula. Tusaasira bonna abaakosebwa n'abaafiirwa abaabwe era tulina essuubi nti tekijja kuddamu.
Buvunaanyizibwa bwa gavumenti okubeerako ky'ekola ng'embeera eyo etuuseewo, naddala ku bantu abaafiirwa obulamu naye nga baabattira bwemage.
Ffe ng'Obukama bwa Bunyoro tukivumirira era tusuubira nti wateekwa okubeerawo okunoonyereza okukolebwa ku nsonga eyo.
FR. JOSEPH NKEERA OMWOGEZI W'ESSAZA EKKULU ERYA KAMPALA:
Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga azze akiddihhana nti, obulamu kirabo okuva ewa Katonda tewali muwendo gw'oyinza kuteekawo kubuliyirira.
Klezia etugamba nti obulamu bwa muwendo ne bwe lubeera lubuto, tekikkirizibwa kuluggyamu kubanga obeera oggyeewo obulamu. Ssaabasumba bwe yabadde mu kuziika Fr. Lumanyika e Lubaga wiiki ewedde yaggumizza ensonga eyo.
Mu mateeka balina omuwendo gwe bateekawo ky'ova olaba ne kkampuni za yinsuwa ziteekawo omuwendo, kiyinza okuyambako kw'abo abasigaddewo ne bafuna obuyambi naye ndowooza nti ssente bandiziwaddeyo nga bw'ogenda okukubagiza so si kusasula bulamu.
Kisaana bakikole mu mutima ogw'okukubagiza kireme kuteekawo ndowooza nti omuntu asobola okutta munne kubanga alina ssente nga yeeyibaala nti ajja kumusasula.
Ssabasumba ku Ssande yatutegeezezza nti okwekalakaasa mu mirembe libeera ddembe erituweebwa ssemateeka n'avumirira effujjo.
Tekisaana kuwagira muserikale akoze kikyamu kyokka oyo akola effujjo naye asaana okukomako ategeere nti ky'akola kibi.
Bwe batugamba nti okwekalakaasa omwafiira abantu kwali kutegeke kibeera kiraga nti ebitongole ebikessi osanga tebyakola mulimu gwabyo bulungi nga byetaagisa okuddamu okubitendeka.
EVEREST KAYONDO SSENTEBE WA KACITA:
Tewali muwendo gw'oyinza kusasula bulamu wabula abantu baali basaana kwetondera naye kirabika omutima ogwo teguliiwo.
Waliwo omukyala yali azze n'omwana ku dduuka kubanga tebali ku ssomero, embeera bwe yatabuka babeera baddayo eka ne bamukuba essasi, omukyala oyo oyinza kumusasula ssente mmeka ku mwana we ow'emyaka 15 eyattibwa.
Pulezidenti asinge kutusuubiza nti ajja kuggya emmundu mu bantu okusinga okutusuubiza okuliyirira abafiiriddwa. Abaserikale bangi abakwata emmundu balabika tebalina butendeke bumala.
SHEIKH MUHAMOOD KIBAATE, OMUMYUKA WA SUPREME MUFTI
E KIBULI:
Mu mateeka g'Obusiraamu omuntu yenna akkirizibwa okuliwa ng'oyo gw'aliyirira yamusse mu butanwa. Bakitwala mu kkooti n'erambika engeri gy'alina okukikolamu. Bw'abeera yasse mu butanwa atuula ne famire yooyo gwe yasse ne bamutegeeza emigaso gy'abadde alina n'agiriyirira kyokka tegiyinza kuggwayo naye kye bakola kwe kumusonyiwa okuliwa okumu. Wabula bwe kibeera ng'eyamusse teyakikoze mu butanwa, oyo akolebwako ng'amateeka bwe galagira. Kino ekyabaddewo, abaserikale baalabiddwa nga bakuba amasasi mu bantu abatali mu kwekalakaasa.
Kyatuyambyeko pulezidenti okuvaayo n'ategeeza nti waliwo abattiddwa nga tebaabadde mu kwekalakaasa, awo kibeera kyangu okumanya eyakubye n'avunaanibwa.
Tuesday, December 1, 2020
Baanukudde Museveni ku bantu abattiddwa mu kwekalakaasa
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...