Tuesday, December 1, 2020

Omwana wange omu bwati gwe nnazaala yanfuddeko - Minisita Mbayo

DDUYIRO AYITIRIDDE YE YAVUDDEKO OKUFA KWE

MINISITA wa Pulezidenti, Esther Mbayo yakaabizza abakungubazi bwe yabadde ayogera mu mutabani we Ian Mawanda eyafudde eggulo n'abagamba nti "Omwana wange omu bwati gwe nnazaala yanfudde.

Bino byabadde mu kusabira omugezi okwamaze essaawa emu, Lutikko ya All saints Church e Nakasero.

"Mutabani wange yafudde bulwadde obwekuusa ku mutima okusinziira ku byavudde mu kukebera omugenzi mu ddwaaliro lya International Hospital in Kampala (IHK) era nange kye nnakakasizza," Mbayo bwe yagambye.

Abasawo baategeezezza nti ekitundu ekya wansi eky'omutima gwe kyabadde kizimbye nga kino kiva ku dduyiro gwabadde akola mu jjiimu. Kino kyaleetedde emisuwa okutoniwa nga tegikyasobola kutambuza bulungi musaayi.

Omugenzi Mawanda

Omumyuka Wa Pulezidenti Kiwanuka Ssekandi Ng'abuuza Ku Minisita Mbayo Akwatiriddwa Specioza Kazimbwe.

Akawungeezi ako, Mawanda yakomawo okuva mu jjiimu ng'asinda nti omugongo gumuluma wabula nalya ku  n'emmere,'' bwe yagambye.

Yagasseeko nti okuziika kwa leero e Kigulamo mu tawuli kkanso ya Busalamu mu disitulikiti y'e Luuka.

"Omwana ono namuzaala ku myezi musanvu era n'afuba nnyo okulaba ng'akula. Tabadde mutabani wange kyokka naye mukwano gwange ennyo era ng'ambuuzaako buli ku makya. Tubadde tulina engeri gye tusaagaamu era nja kumusubwa nnyo," Mbayo bwe yagambye.

Mawanda abadde alina emyaka 26. Abadde alina ddiguli mu bya kompyuta (Software engineering) mu from Makerere University. Abadde akola ne kkampuni ya Carbral Tech Ltd, in Kampala.

Mbayo yagambye nti mutabani we abadde mukwano gwa John  Katumba eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti .

Eyaliko omumyuka wa pulezidenti, Dr. Wandira Kazibwe nga kati muwabuzi wa pulezidenti mu byobulamu n'omuwendo gw'abantu  yagambye nti naye yafiirwa omulongo we Kevin Babirye eyali mu myaka gye gimu ne Mawanda.

Kazibwe yagambye nti okufa okulinga okwa Mawanda kutera okubaawo ku baana abazaaliddwa nga tebannatuuka.

Kazibwe yabuuliridde abavubuka okwewala okuzimba emifumbi kubanga bayinza okugaziwa emisuwa eminene egitambuza omusaayi ne kibareetera obuzibu ne kibaviirako okufa..

Ssekandi eyakiikiridde  Yoweri Museveni yabawadde obukadde 20 nga amabugo era n'asaba Katonda abagumye.

Ate ye Ssaabasumba w'ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu, yagambye abakungubazi nti entegeka za Mukama za njawulo ku za bantu n'asaba Katonda agumye minisita Mbayo ne bba Eng. Mbayo, n'abooluganda n'emikwano. Yabasibiridde Zabbuli  46 egamba nti ‘ Katonda kye kiddukiro n'amaanyi gaffe. Omubeezi ddala, atabula mu kulaba ennaku…

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts