Balaam Barugahara awadde bbebi wa Jennifer Nakangubi amanyiddwa nga Full Figure ekyapa ky'ettaka ne yeewaana. ‘'Ono omwana emikisa gye yazze nagyo sigirabanga. Eggulo Maama Fiina yamuwadde obukadde 6 n'agattako n'okumusuubiza mmotoka ate kati Balaam azze na kyapa n'abalala bakyaleeta."
Ekyapa kino Balaam akimuweeredde mu ddwaaliro lya Bugolobi Medical Center ku Lwokusatu ku makya gy'abadde agenze okumukulisa okuzaala. Full Figure yazadde ku Mmande.
Asoose kumusiima olw'okwagala ennyo Pulezidenti Museveni n'okumuyiirawo omubiri ng'enjogera y'ennaku zino bweri n'oluvannyuma n'amusimba ekyapa ky'ettaka erisangibwa ku Block 158, puloti 151 e Wakiso.
Okukakasa nti si kiwaani, agasseko n'endagaano eyasiddwaako omukono gwa Balaam ne bannamateeka emukkiriza okukyusa ekyapa okudda mu mannya ga bbebi eyatuumiddwa Museveni Kairos Pearls ne Jennifer Nakangubi era Balaam yakunze ne banna NRM abalala okulaga Full Figure omukwano n'okumusiima.
Full Figure agambye nti gano gakyali mabaga kubanga alina emikwano mingi era bakyaleeta ebirabo ebirala ng'agamba nti omwana yazadde wa mukisa.
Mu ddwaaliro Balaam awerekeddwaako Pasita Mondo asabidde bbebi ne maama we wamu n'eby'obugagga bye babawadde okulaba nga bifuuka eby'omugaso gye bali.