Wednesday, December 23, 2020

Balwanidde mu kampeyini za Lukwago

Balwanidde mu kampeyini za Lukwago

ABAWAGIZI ba Kenneth Paul Kakande n'aba Wilberforce Kyambadde owa FDC bwe bavuganya ku kifo ekimu ekya Palamenti e Nakawa West baakubaganidde ku lukung'aana lwa Loodi Meeya, Erias Lukwaago e Bukoto bombi bwe yabayise.

Aba FDC baabaddewo nga bammemba b'ekibiina abateekwa okwegazaanyiza ku lukiiko lwa mmemba munnaabwe Erias Lukwago. Baabadde basuubira nti olukiiko lugenda kunoonyeza ba FDC bokka obululu okutandikira ku bakansala mu kitundu okutuuka ku pulezidenti n'ababaka.

Abavubuka nga bataasa Bikumbi okulwana.

Kyokka baagenze okulaba nga Kenneth Paul Kakande ayungudde ebibinja by'abawagizi abaabadde bamuwaana mu nnyimba era ng'abamu abambazza emijoozi egy'enjawulo. Aba FDC kino baakirabye ng'okubalengezza ku lukung'aana lw'omuntu waabwe, Lukwago. Avuganya ku bwakansala Ismail Bikumbi teyalinze kumunnyonnyola n'alumba omu ku bawagizi ba Kakande okukkakkana nga bakubaganye kyokka ne bataasibwa mangu.

Kino kyatabudde ssentebe wa FDC ku kyalo Mulimira awaabadde olukiiko, JohnBosco Ahimbisibwe n'agamba nti Kakande takkirizibwa kwogerera mu lukung'aana lwa FDC. Wabula aba Kakande abaabadde bawaga nti wadde Enanga babawalana naye be basinga obuwagizi era baalemeddeko nti Loodi meeya yabayise era bateekwa okubeerawo.

Lukwago oluvannyuma yalung'amizza nti olutalo lwe balimu bonna ku ludda oluvuganya lwa kugoba Pulezidenti Museveni naye si kulwanira bifo. "Ekizibu kya pulezidenti Museveni, era Kakande okubeera wano kiraga nti tuteekwa ffenna okugatta amaanyi tugobe Museveni. Wabula ku bifo byammwe tuleke abalonzi basalewo ku gwe baagala abakiikirire naye nga bonna tubawadde omukisa okwogera eri bammemba baffe," Lukwago bwe yagambye.

Yabasabye bamulonde ababeererewo kubanga Kampala yeetaaga omuntu omuvumu ate atekkiriranya . Yagambye nti Gavumenti tekyayagala kulumirirwa muntu wa bulijjo y'ensonga lwaki abakolera mu bifo bangi bagobwa naye kati ye agenda kubayiirawo omubiri. Kakande yagambye nti alina obumanyirivu, munnamateeka ate akulidde mu kitundu era akolagana bulungi ne Loodi meeya Lukwago n'asaba bamuyiire obululu.

Ate Stella Nyanzi yagambye abantu nti naye bamulonde kubanga akolagana bulungi ne Lukwago gwe yayogeddeko ng'engabo ya Bannakampala. Wabula abatuuze baasabye Lukwago abayambe ku Kasasiro, emyala n'obuyonjo. Wano ayagala obwa meeya, Daniel Muwonge we yategeerezza nti ye azze kukola ku bizibu by'abatuuze mu bitundu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts