Wednesday, December 23, 2020

Ssente z'Emyooga zaakuyamba abeetegese obulungi

Ssente z'Emyooga zaakuyamba abeetegese obulungi

Minisita wa Micro- Finance, Haruna Kasolo avuddeyo n'asambajja ebibadde biyiting'aana nti ssente z'emyooga zigendereddwamu kuguliriira balonzi n'agamba nti zino ssente z'atandika dda okukolebwako mu 2018 era abo bokka abanaabeera beetegese obulungi be banaaziganyulwamu.

Abamu ku beetabye mu musomo.

Ono asinzidde Nabweru gye yasisinkanidde ebibiina by'emyooga okwetooloola divizoni y'e Nansana. Yabategeezezza nga ssente ez'okubaweebwa bwe zaamala edda okutuuka mu nsawo era ng'alinze kibiina ekimaze okutuukiriza ebisaanyiizo kizifune.

Kasolo ayatulidde abatuuze b'e Nansana nti tazze na ssente nkalu nga bwe babadde basuubira wabula abaleetedde amagezi n'ebintu ebigenda okubayamba okwekulaakulanya nga kino kinnyogozza abatuuze bano kuba bazze basuubira nti ssente z'emyooga baddayo nazo ewaabwe.

Ye RDC wa Kasangati, Justine Mbabazi asinzidde wano n'ategeeza nti buli muntu waddembe okulonda omuntu gw'ayagala mu mirembe bwatyo n'alabula bonna abesomye okwenyigira mu bikolwa by'effujjo nga bwe bagenda okukolwako bunnambiro.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts