POLIISI yawandagazizza amasasi ne ttiyaggaasi mu lukuhhaana Robert Kyagulanyi, (Bobi Wine) lwe yakubye ku nsalo ya Uganda ne South Sudan mu Elegu Town Council mu disitulikti y'e Amuru n'egumbulula abawagizi be.
Waasoose kubeerawo kusika muguwa nga poliisi esudde emisanvu mu kkubo n'eragira Kyagulanyi bamukulembere okumutuusa mu kifo we yabadde alina okukuba olukung'aana, ye n'alemerako ng'abategeeza nti alina kusooka kutuuka Elegu kubanga kyabadde mu nteekateeka ze.
Bino byabaddewo nga wabulayo olugenda lutono okutuuka e Elegu, bwe beenyodde okumala ekiseera nga Bobi ali ne Dr. Lina Zedriga Waru Abuku amumyuka mu bukiikakkono bwa Uganda. Ddereeva wa Bobi yawagaanyizza emmotoka okugiyisa mu nsiko poliisi n'egitaayiza.
Oluvannyuma bamufuuyidde kaamulali mu maaso n'adduka ng'agenda mu mmotoka ye era poliisi n'eddako wabbali kyokka yagivuze agenda mu kabuga ke baabadde bamugaanye n'atandikirawo okuwaga ng'ali n'abawagizi be.
Yabadde yaakatandika okwogera, amasasi ne ttiyaggaasi ne bitandika okunyooka abantu ne basaasaana olwo naye n'asimbula ng'adda ku kifo ekirala era mu disitulikiti y'e Amuru.
Bino okubituukako, yakedde kusimbula mu disitulikiti y'e Adjumani we yasuze, yabadde alina okunoonyaayo akalulu ku Lwokusatu wabula yagenze okutuuka mu kibuga Adjumani ng'essaawa ziweze 2:00 ekiro kyokka abantu abaabadde batandise okwegugunga n'abakkakkanya.
Yabategeezezza nti embeera y'enguudo embi yamulemesezza okubatuukako mu budde n'abajuliza we yatuuse ku mugga Foligo ogwawula Obongi ne Moyo ng'emmotoka tezisobola kuyita mu mazzi agaasazeeko oluguudo ne basalawo okuzisindika.
Bwe yavudde mu Amuru yeeyongeddeyo mu bitundu by'e Omoro ne Nwoya. Olwaleero (Lwakutaano), alina kubeera Kole, Alebtong ne Otuke.
Friday, December 11, 2020
Bobi Wine ayise mu musisi okukuba kampeyini mu Amuru
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...