LT. Gen Proscovia Nalweyiso atabudde ebya Sheikh Nuhu Muzaata bw'ategeezezza nti yafudde corona n'alumba abaalese Muzaata n'aziikibwa ng'afudde olumbe olwabulijjo ekiyinza okusiiga abalala corona.
"Mbadde mpuliriza Muzaata okuva lwe yalwala. Ndi omu ku be yasooka okutegeeza. Ab'e Kibuli baleka batya mayiti okutwalibwa mu bantu abangi nga Muzaata yafudde corona? Aba Minisitule y'Ebyobulamu nabo ne basirika busirisi? Eddwaaliro lya IHK eryajjanjabye Muzaata nalyo ne litafaayo?", bwe yeebuuzizza.
N'agamba nti kirabika bonna baasirise lwa byabufuzi kubanga tuli mu kiseera kya kalulu.
Nalweyiso nga ye muyambi wa Pulezidenti ku byamagye yagambye nti mu Uganda kirabika tewakyali afaayo ku bulamu bw'abantu. Kubanga obulagajjavu tebukomye ku Muzaata, waliwo abakungu mu Gavumenti abaalwala corona okuli Kirunda Kivejinja kyokka teri abyogerako.
Muzaata yafudde ku Lwokutaano oluwedde mu ddwaaliro lya IHK n'aziikibwa ku Lwomukaaga e Kigoogwa ku lw'e Bombo. Yafudde luvannyuma lw'okufuna obuzibu mu mawuggwe n'akaluubirirwa okussa.
Nalweyiso yagambye nti yayogera ne Muzaata ng'omukka abaka mubake nga tasobola kussa. Abadde alondoola ebikwata ku Muzaata kubanga y'abadde asindika ssente z'obujjanjabi mu ddwaaliro.
Yasooka kuwa Muzaata obukadde 20 ez'okukozesa n'agattako obukadde 32 ezaasasulwa eddwaaliro wiiki esooka ate bwe yafudde n'asasula obukadde 36.
"Nneewuunyizza okulaba nga Muzaata aziikibwa nnamungi w'omuntu nga walinga awatali baakitegedde nti yafudde Corona. Kino kyatadde obulamu bw'abantu bangi mu katyabaga", bwe yagambye.
FFAMIRE YA MUZAATA BAGENZE GYE YAFIIRIDDE
Abaffamire ya Muzaata, eggulo baagenze mu ddwaaliro lya IHK bannyonnyolwe ekituufu ekyatta omuntu waabwe. Baagenze ne bamaseeka abakulu e Kibuli abaakuliddwa omumyuka wa Supreme Mufti, Sheikh Muhamood Kibaate.
Bino okubaawo nga waliwo okukubagana empawa ku bulwadde obwasse Muzaata. Nnamwandu Kuruthum Nabunya yategeeza nti bba yafudde corona. Era kye kyamugaana okumubeera ku lusegere lwa bba nga mulwadde kubanga abadde mu kifo w'abeera yekka mu ddwaaliro nga tekkirizibwayo bantu.
Waliwo n'ebizze bisaasaana ku mikutu gya yintaneti nti yandiba nga yafudde butwa.
KIBULI EVUDDEYO
Sheikh Muhammed Kigozi Setyabule, Ssaabawandiisi w'olukiiko olufuzi mu ofiisi ya Supreme Mufti e Kibuli yategeezezza Bukedde eggulo nti ebya Muzaata okufa corona mawulire gye bali.
N'agamba nti eddwaaliro lya IHK bwe lyali libawa omulambo baabategeeza nti afudde lubyamira atera okutawaanya ennyo abantu abakuze mu myaka. Buno bwe bulwadde obwamukosa amawuggwe n'abeera nga takyasobola kussa. Yagasseeko nti ssinga baali bategeezeddwa ebya corona bandigoberedde ebiragiro byonna ebiweebwa omuntu abeera afudde corona.
"Mayiti baagituwa ng'omuntu eyafudde obulwadde bwa bulijjo. Bwe kiba nga kituufu ekya corona si ffe tuba tuvunaanyizibwa ku nsobi ezaakoleddwa kuba tetuli bakugu era tetwawabulwa," Setyabule bwe yagambye.
N'agamba nti ekyewuunyisa ofiisi ya Supreme Mufti omugenzi mwe yali akola ng'omwogezi era akulira ebya Daawa, baabagaana okulaba ku mulwadde. Buli lwe baagezangako okumulaba nga babagamba nti ali mu kasenge k'abayi aka Intensive Care awatatuuka bantu, okutuusa lwe yafa.
Agattako nti ebbaluwa oba lipoota eraga ekisse omugenzi nayo tebaagibawa. Baabannyonnyoza bigambo. "Noolwekyo Nalweyiso ng'omukungu wa Gavumenti atunenyeza bwereere."
Ye Peter Mulindwa omwogezi wa IHK yagambye nti amateeka tegabakkiriza kubaako kye boogera ku by'obulwadde bw'omuntu yenna. N'asaba ffamire y'eba etangaaza kuba baabawa ebbaluwa ekwata ku bulwadde obwatta Muzaata. Kiri gye bali okutegeeza abantu.
Dr. Diana Atwine omuwandiisi owenkalakkalira owa minisitule y'ebyobulamu teyafunise kubaako ky'atangaaza. Kyokka oluvannyuma lwa Muzaata okufa yateeka ku mukutu gwa yintaneti obubaka obusaasira ffamire n'abooluganda lw'omugenzi. Bwe yali amaliriza n'agamba "covid is real. Observe SOPs" ekivvuunulwa nti corona gy'ali wa ddala. Mugoberere okuwabulwa kw'ebyobulamu.
Friday, December 11, 2020
Nalweyiso agamba nti akakasa Muzaata yafa Corona; Kibuli ezzizza omuliro
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...