Thursday, December 3, 2020

Bright Stars ne KCCA zigguddewo liigi ya 'Super'

Bright Stars ne KCCA zigguddewo liigi ya 'Super'

Bright Stars - KCCA e Kavumba 10:00

ENNYONTA abawagizi ba liigi ya Uganda gye babadde nayo eggwaawo leero, era beesunze okulaba ku ttiimu zaabwe oluvannyuma lw'emyezi munaaana. Liigi y'eggwanga eya StarTimes Uganda Premier League yakoma okuzannyibwa mu March, Pulezidenti Museveni lwe yayimiriza emizannyo olwa Corona.

Yali ebuzaayo emipiira etaano ekomekkerezebwe, wabula FUFA n'esalawo ekkome awo, ekikopo ne kiweebwa Vipers eyali ekulembedde n'obubonero 54. Leero liigi ezzeemu, nga mu bisaawe temuli bawagizi, olw'okussa mu nkola ebiragiro bya Pulezidenti ne Minisitule y'Ebyobulamu, okwerinda Corona.

KCCA ne Bright Stars be baggulawo mu kisaawe e Kavumba, ng'abantendesi bombi buli omu awera kutandika na buwanguzi. Sizoni ewedde, KCCA yamalidde mu kyakubiri era amangu ddala n'eyingira akatale n'egula abazannyi 11 ng'egamba nti ku luno teri kugiremesa kikopo.

Juma Balinya ne Denis Guma be bamu ku balina obumannyirivu KCCA be yagula, era omutendesi Mike Mutebi agamba nti baakumuyamba mu lugendo lw'ekikopo, singa bakwatagana obulungi n'abalala. "Twaguze abazannyi abalungi era abawagaizi baffe basuubire okufuna ekikopo.

Tulinamu abazannyi abalwadde, wabula abasobola okuzannya ne tufuna obuwanguzi ku Bright Stars tubalina," Mutebi bwe yategeezezza. Yalaze okutya nti Bright Stars y'emu ku ttiimu ezisinga okumukaluubiriza kuba ebeera n'abazannyi abalemerako, kyokka n'agamba nti waakugiyungulira ttiimu egenda okugisumulula. Sizoni ewedde, Bright Stars yakuba KCCA ggoolo 2-1 e Mwereerwe ate bwe baagenda e Lugogo baalemagana 1-1.

OWA BRIGHT STARS NAYE MUGUMU Baker Mbowa, eyaliko ssita wa KCCA, nga kati y'atendeka Bright Stars, yategeezezza nti KCCA nnungi kuba erina buli kimu ekigisobozesa okukola obulungi, kyokka tagitidde kuba naye yeetegese kuwangula.

"Tulina okutandika ne wiini kuba obubonero bw'ennaku zino olina kubukuhhaanya nga liigi yaakatandika," Mbowa bwe yategeezezza. Bernard Bainamani akulira liigi, yalabudde abawagizi obutentantala kugenda ku bisaawe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts