ABAKAKIIKO akategeka empaka z'Amasaza balabudde okugoba abazannyi n'abakungu ba ttiimu abanaatoloka mu nkambi awagenda okubeera emipiira gino. Empaka zino zitandika nga December 12 ku kisaawe kya FUFA Techinical Center e Njeru.
Ttiimu zaayawuddwaamu ebibinja bina (4), era olw'okwewala okusaasaanya Corona, abazannyi n'abakungu ba buli kibinja, baakusuzibwa mu nkambi e Njeru okutuusa ng'emipiira gyakyo egy'okusunsula giweddeyo. Bonna baakusooka kukeberwa Corona.
Abanaayitawo ku buli mutendera oguddako nabo baakukolebwa bwe batyo okutuusa ku fayinolo. Minisita w'Ebyemizanyo e Mmengo, Henry Ssekabembe, yagambye nti anaazuulibwa ng'afulumye enkambi mu kiseera waalina okugibeeramu waakugobwa.
"Tetugenda kuttira muntu yenna ku liiso," Ssekabembe bwe yagambye, oluvannyuma lw'oku-lambula ekisaawe kino ku Lwokuna. Ssentebe w'akakiiko k'empaka zino, Sulaiman Ssejjengo yeebazizza FUFA olw'okubakkirizza okukozesa ekisaawe kino okutegeka empaka.
Kabaka y'asuubirwa okuggulawo empaka zino wakati wa bakyampiyoni aba Bulemeezi ne Butambala. Bulemeezi yawangula Busiro (1-0) ku fayinolo.