TTIIMU y'essaza lya Busiro ekomyewo mu nsiike olwaleero(Lwakusatu) ng'enoonya obuwanguzi obwookubiri erinnyise emikisa gy'okuva mu kibinja mweri.
Busiro yakubye Buvuma olukunkumuli lwa ggoolo 7-0 n'essaawo likodi empya (eya ttiimu esoose okukuba ginnaayo ggoolo empitirivu mu mpaka z'amasaza sizoni eno).
Era ekomyewo mu nsiike ng'ettunka ne Busujju (emu ku ttiimu ezirina abazannyi ba ttiimu y'eggwanga ento okuli; Ivan Irinimbabazi ne Isah Bugembe )mu gumu ku mipiira egisuubira okunyumira abawagizi.
Mu miralala, Buvuma yakufaafaagana ne Kyaggwe nga ttiimu zombi zaakamala okukubwa emipiira gyazo egyagguddewo ekibinja kino.
Buvuma yakubiddwa Busiro(7-0), ate Kyaggwe n'ekubwa Buweekula (2-1) ekigenda okunyumisa ensiike eno olwa buli ttiimu obutaagala kuddamu kusuula bubonero 3 okusobola okusigaza emikisa egiva mu kibinja.
"Tulina okuwangula omupiira gwa leero bwetuba baakuva mu kibinja n'okusigala mu lwokaano lw'okuvuganya ku kikopo kya sizoni eno", bwatyo omutendesi wa Kyaggwe Hussein Mbalangu bw'ategeezeza ng'ali mu kwetegekera ensiike ya leero.
Oluzannya olwokubiri lwatandise ku Mmande emisana n'emipiira gy'ekibinja kya Bulange 2 era nga lwakugenda mu maaso n'ebibinja ebyenjawulo okuli; Masenger ne Muganzirwaza okutuusa nga 17 January 2021 lwe lunakomekerezebwa ne ttiimu ezenjawulo ezinabeera zeeyongeddeyo ku quarter finals.