
DEREEVA w'ekitongole kya kaliiisoliiso wa gavumenti kigambibwa asoowaganye ne mukazi we n'akwata ennyondo n'agimukuba ku mutwe naye ne yeeteekamu omuguwa ne yeetuga ng'alowooza nti mukazi we naye afudde.
Enjega eno ebadde Bulindo mu munisipaali y'e Kira mu Disitulikiti y'e Wakiso, Joseph Elogu, 50 bw'akutte ennyondo n'agikuba mukazi we, Florence Nyakake nga kigambibwa basoose kuyombagana ne balwana.
Charles Gita omuvuzi wa bodaboda asoose okutuuka mu maka gano agamba nti ku ssaawa 9:00 ez'ekiro Nyakake yamukubidde essimu n'amubuulira buli kimu era n'amutegeeza nga bw'awulira obubi omusaayi gumugwamu kyoka n'akubira poliisi essimu emuyambe kyokka yagaanye okujja era bwatyo naggyako essimu.
Gita yayanguye mangu ku pikipiki ye n'atuuka mangu mu maka gano ne bayamba Nyakake ne bamutwala mu ddwaaliro wabula ye Elogu yabadde ku muguwa mu ddiiro ng'alengejja tebamukuteko .
Omulambo gwa Elogu gutwaliddwa e Kalaki mu disitulikiti ye Soroti gy'agenda okuziikibwa ate ye Nyakake akyajjanjabibwa mu ddwaaliro ly'e Victoria Hospital e Bukoto .
Omumyuka w'omwogezi wa Poliisi owa Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire akakasiza ekikolwa kino n'agamba nti nga Elogu tannaba kukuba mukazi we nnyondo alina mikwano gye be yasindikidde obubaka nga abasaba bamusonyiwe ku kye yabadde agenda okukola n'agamba nti yakikoze lwa mukazi we.
Omu ku booluganda lwa Elogu yawakanyiza eby'okwetuga n'agamba nti waliwo omusaayi gwe bamusanzeeko ku kiwato ate n'engeri omulambo gye bagusanzeemu gwabadde tegulaga nti yeetuze.