OMUGAGGA Drake Lubega atabuse bubi ne mukazi we. Omukazi addukidde mu kkooti baawukane era agabane ebizimbe bitaano ku 31 Lubega by'alina.
Agamba tayinza kuviiramu awo kubonaabona kubanga batobye ne Lubega okugaggawala era ssente z'abatuusa n'okugendanga mu masabo. Eyo abasamize gye baabakolerangako emikolo.
Jalia Nagawa Lubega yakoze ekirayiro mu Kkooti Enkulu ewozesa emisango gy'amaka. Agamba bamaze ne Lubega emyaka 36. Baafumbiriganwa mu bufumbo bw'ekinnansi nga August 1, 1989. Okwanjula kwaliwo mu June 1984.
Agamba tayagala kwesiba ku Lubega kyokka okumuleka asooke amuwe ddoola obukadde butaano ne akeedi ttaano okuli- SB Plaza ku Burton Street, Jesco, Qualicell Bus Terminal (Lubega kye yali akaayanira ne Muhangi), amaka e Muyenga.
Ekibatabula, agamba nti Lubega amukuba, tebakyanyumya kaboozi n'okumulemesa okukola. "Okunkuba kye kyannemesa okuzaala kubanga nnavaamu embuto eziwera", bwe yategeezezza.
Bukedde bwe yamutuukiridde bakira ayogera akulukusa amaziga. "Nnina omukono munene mu kugaggawala kwa Drake. Ssente ze twatandika nazo kwaliko ezange. Ensonga bwe zaatabukanga okuli be tubanja obutatusasula twagendanga ffembi mu masabo", bwe yategeezezza.
Ekimu ku bintu mwe baafuna ssente, yagambye nti kwali kuguza magye mmere n'ebikozesebwa ebirala. "Olumu amagye gaagaana okutusasula ng'ate twali tubanja ssente nnyingi. Mu kiseera ekyo ssente zaffe twali tuzitadde mu kugula bye twawanga abajaasi.
Twalina sitoowa ku leerwe ku Good Shed mu Kampala we twali tusuubulira n'okutereka ebijanjaalo. Olumu Gen. David Tinyefuza yabikwata (ebijanjaalo) nga biri ku loole ezibisomba ng'ayagala kusooka kulaba nnannyini byo", bwe yannyonnyodde.
"Twaweebwa amagezi okusooka mu basamize nga tetunnagenda kubanja. Twagenda ew'omusawo e Kagoma ku lw'e Bombo. Omusawo yatutegeeza nti eddagala lye yatuwa nze nnalina okulikola era Lubega yandeka wala nga nkola eddagala n'agenda okubanja", bwe yannyonnyodde. N'agattako: Eddagala lyakola. Lubega yagenda okubanja yakomawo n'ensawo ya ssente nga bamusasudde. Nga bamuwadde ne ttenda endala okwongera okuguza amagye ebintu.
"Ssente ze twafuna mu magye zaatuyamba nnyo okusuubula omuceere ne tuddako ssukaali nga tumutundira ku Nakivubo Mews. Twatandika okugenda ebweru okusuubula ebintu bye twaguzanga abatembeeyi. Twagula n'ekizimbe kyaffe ekyasooka ku Nakivubo Mews", bwe yannyonnyodde. N'agamba nti ebyo byonna yabikola Lubega amugumya okwerumya bakolerere obukadde bwabwe.
"Ekinkaabya nnina obulumi sazaala mwana ng'omusajja ansamba embuto ne zivaamu, nakola n'amaanyi gange gonna ng'omwami wange ahhamba tukolera bukadde bwaffe naye laba obukadde bwe nakolerera." Nagawa bwe yagambye.
Nagawa 56, agamba nti ekimukaabya takyasobola kukola. Talina mwana. Ali mu mbeera mbi erimu okutiisibwatiisibwa. "Njagala kugabana ku byabugagga bye nnatuuyanira".
Ssente endala ze yassa mu bizinensi agamba nti yaziggya ku musajja omulala Jimmy Kaise ow'e Mukono gwe baali basuubula naye omuceere n'ebijanjaalo e Pallisa . Kaise yeegomba Nagawa n'amukwasa loole mwe yakola ssente oluvannyuma ze yakozesa ne Lubega.
ENGERI GYE BAASISINKANA
Nagawa yagambye nti okumanya Lubega, yali agenze ne mukulu we Alisat Nagawa ne mwannyina omulala e Pallisa okusuubula. Mu kiseera ekyo Lubega yalina omukazi Nnaalongo. Nnalina ssente ntono 4,000/- nga nzigulamu
enkoko nnya ne nzireeta e Bwaise okuzitunda. Nnagulanga gomesi ne nzitwala e Pallisa ne bampaamu ebyamaguzi okuli muwogo, enkoko, obuwunga n'ebirala.
Lubega yali asuubula e Pallisa micungwa n'obuwunga bwa muwogo obutabulemu omuwemba. Yabitundanga Nakasero, Nakawa ne Banda.
Nnaalongo (muka Lubega) yali atunda mafuta g'obwendo e Banda. Lubega yali yakazibwako Ssaalongo Banda okumwawula ku Ssaalongo omulala ow'e Mukono gwe baakolanga naye.
Lubega yankwana kyokka ne bandabula nti teyali mwangu. Nnali muto ng'omukwano gumbisse amaaso. Bye bambuulira ssaabiwulira. Nga twagalana ne Lubega ate Kaise we yajjira ng'alina ssente nnyingi.
Nnali nsazeewo okufumbirwa Kaise naye maama Masitula Nabbosa n'akigaana. Yalaba Kaise ne Lubega kyokka maama n'asalawo nfumbirwe Lubega. Maama yandagira okuzzaayo ssente za Kaise nange kye nnakola.
Lubega okunnemesa Kaise, yantwala e Ibanda nga nsuubula ebinyeebwa n'okubitikka ku ggaali y'omukka okubireeta e Kampala. Twaddamu okusuubula omuceere e Pallisa nga tuguleeta Kampala mu Kikuubo ne tufunira ddala ssente.
LUBEGA BYE YAGAMBYE
Omusango oguli mu kkooti amateeka tegakkiriza kugwogerako. Bwe nkitegeera ng'omuntu yenna ayagala kunzigulako musango sisobola kugwogerako.
"Nze kati omumwa n'emikono gyange bisibe kubanga ensonga ziri mu kkooti. Nninze binaava mu kkooti", bwe yawunzise.
Source