OMULAMUZI w'eddaala erisooka mu kkooti e Butalangu mu Nakaseke, Milly Nankya agobye omusango gw'okukuba olukuηηaana olumenya amateeka ogubadde guvunaanibwa omubaka wa Nakaseke South, Paul Luttamaguzi Semakula n'abawagizi be 22 oluvannyuma lw'oludda oluwaabi okubulwa ababalumiriza.
Nankya yali awadde olwa November 2 okutandika okuwulira omusango guno kyokka okuva olwo oludda oluwaabi lwalemwa okuleeta abajulizi omwali omuduumizi
wa poliisi mu Nakaseke, Sulaiti Kitaka n'abapoliisi abalala babiri.
Ku Lwokuna omuwaabi wa gavumenti Angello Wasswa yazzeemu okutegeeza kkooti ng'abajulizi bwe bataalabiseeko era wano munnamateeka Richard Lumu we
yasabidde omusango gugobwe kuba omubaka Luttamaguzi asusse okuleppusibwa mu kkooti n'amalirwa ebiseera by'okuyigga obululu.
Omulamuzi Nankya yasazeewo okugoba omusango oguvunaanibwa
abantu bano n'alagira n'ensimbi z'okubeeyimirira ze baasasula zibaddizibwe. Luttamaguzi
n'abawagizi be 22 baakwatibwa nga August 28 omwaka guno.
Luttamaguzi yategeezezza nti emisango gibaddemu ebyobufuzi.
Saturday, December 5, 2020
Ogwa Luttamaguzi n'abawagizi be gugobeddwa
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...
-
South Africa's Health minister says the nation will still hit its COVID-19 vaccination targets, even as it pauses the use of the Johnson...