Monday, December 28, 2020

Ebikolwa by'okutta abantu ebyeyongera bitiisa

Ebikolwa by'okutta abantu ebyeyongera bitiisa

Omulabirizi w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira alaze okunyolwa olw'engeri ebikolwa by'okutta abantu gye byeyongera buli olukya wadde nga bbo bannaddiini babadde bafubye okubivumirira.

Luwalira ng'akwasa omukyala ekirabo.

Luwalira agambye nti ebikolwa eby'obutanyigiriza bantu n'obutatyoboola mirembe, bannaddiini bagezezzaako okubyogerako wadde ng'abakulembeze babinyooma.

Asinzidde ku ddwaaliro e Mengo mu kusaba kw'okusiibula omubuulizi George Karyemanya ssaako okwebaza Katonda olw'okumusobozesa okuweereza emyaka 33 mu kkanisa ya Uganda.

Luwalira asabye abakulembeze okwogera ebigambo ebireeta emirembe nga tebiriimu kukuma mu bantu muliro oba okunyigiriza oludda olulala kyagambye nti kiraga kyekubiira mu ggwanga.

Ate Omulabirizi wa Mityana, Dr. James Bukomeko asabye Bannayuganda okuwang'ana ekitiibwa wakati ng'eggwanga lyetegekera okulonda ate waleme kubaawo musaayi mungi guyiika wakati mu kulonda.

Ayongedde n'asaba Bannayuganda okwekuuma ekirwadde kya corona kyagambye nti kyeyongedde nnyo mu ggwanga n'abasaba okugoberera buli kimu ekitangira okusaasaana kw'ekirwadde kino.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts