Monday, December 7, 2020

Ebizuuse ku nfa ya Muzaata

Ebizuuse ku nfa ya Muzaata

Hajji Hasib Takuba.

OLUMBE olwasse Sheikh Nuhu Muzaata Batte abadde omwogezi w'e Kibuli lwamutandika yaakava okuziika Dr. Anas Kaliisa e Ruhama mu disitulikiti y'e Ntungamo.

Sheikh Yasin Kiweewa abadde amyuka Muzaata mu kibiina kya Muzaata & Others Hijja-Humra, yagambye nti omugenzi okulwala yamala kuva Ruhama okuziika Dr. Kaliisa nga November 6, 2020. Kiweewa yannyonnyodde nti: Sheikh olwatuuka awaka n'agonda era yasooka kulowooza nti musujja gwa nsiri kubanga yali aluwulira ng'olusujjasujja ate nga lumutemye n'ennyingo zonna.

Sheikh (Muzaata) yatandika okufuna obujjanjabi nga bamujjanjabira waka. Oluvannyuma baakebera omusujja gw'ensiri (Malaria) naye nga teguliimu era ne bamutegeeza nti alinamu omusujja gw'omu by'enda (Typhoid) kyokka nga ssi gwa maanyi. Waliwo ebifaananyi ebyasooka okukubibwa nga Muzaata ali ku ccupa kyokka ng'ali waka era nti ebyo byakubwa obulwadde bwakamukwata nga tebunnamugonza.

Ekiseera ekyo abantu yali ayogera bulungi nga n'abamukubira amasimu abategeeza nti alinamu olusujjasujja, naye ajja kuba bulungi. Sheikh Kiweewa yalambuludde nti Muzaata ng'akyali ku ddagala lya "Typhoid" embeera yeeyongera okutabuka era bagenda okumukebera nga Puleesa ne Sukaali birinnye era n'atandika okutawaanyizibwa okussa.

Bwe baalaba ng'embeera etabuse ne bamutwala mu ddwaliro e Kibuli wabula nti abasawo baabawa amagezi bamutwale ku ddwaaliro lya IHK oba Case Hospital. Olwo yali atawaanyizibwa nnyo mu kussa, ng'omukka abaka mubake. Baasalawo okumutwala mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo olwokuba nga lye lyali okumpi okuva e Kibuli we baali.

Nga batuuse ku IHK, abasawo baamwekebejja ne bakizuula ng'amawuggwe gaali ganafuye nga takyasobola kussa bulungi. Baamuteekako ebyuma ebibadde bimuyamba okufuna omukka okuyamba ku mawuggwe. Kiweewa yagambye nti ennaku zonna Sheikh Muzaata z'abadde mu IHK abadde ku byuma ebimuyamba okussa. Abasawo babadde batera ne bamuggyako okumala akaseera akagere oluvannyuma ne bamuzzaako.

LIPOOTI Y'ABASAWO ERAZE EKYAMUSSE: Lipoota eyakoleddwa abasawo ba IHK yafulumye n'eweebwa aba ffamire ng'eraga ekyasse Muzaata. Lipoota eno baagiweerezza ne ku bakulu e Kibuli abaabadde wakati mu nteekateeka z'okujjanjaba n'okuziika Muzaata.

Lipoota eraga nti Muzaata yafudde obulwadde bwa lubyamira obumanyiddwa nga "Pneumonia" obwakaluubirizza amawuggwe okutambuza omukka era Muzaata n'alemererwa okussa n'afa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde. Obuzibu obunene nti bwabadde ku bisawo ebitereka omukka mu mawuggwe ebiyitibwa "Alveoli" ebyafuna amabwa ne bizimba nga tebikyasobola kutereka mukka bulungi n'okugutambuza mu mubiri era kino kye kyamukaluubiriza okussa okutuusa lwe yafudde.

Embeera eyo bwe yeegasse ku Puleesa ne Sukaali ebibadde bitera okutawaanya Sheikh Muzaata, ne kikaluubiriza nnyo abasawo. "Emirundi egimu nga puleesa etereera, Sheikh ne bamuggyako ebyuma, wabula ennaku ezaasembyeyo, puleesa yagaanye okutereera era mukadde waffe n'atufaaako." Omu ku mikwano gye bwe yalambuludde.

Mukwano gwa Muzaata ono eyasabye amannya galekebwe yagambye nti: Abasawo baasooka kulowooza nti yandiba ng'alwadde Corona olw'okuba yali tassa bulungi. Baamuteeka mu kifo eky'enjawulo okutuusa lwe baamukebera ne kizuulibwa nga yali tamulina. Obubonero bwa Pneumonia ne Corona bufaananamu kubanga endwadde zombie zisinga kukosa mawuggwe ne zikaluubiriza omuntu okussa, ng'alina kuteekebwa ku byuma okumuyambako okussa.

Obubaka Dr. Diana Atwine omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa Twitter nabwo bwewanisizza abantu emitima bwe yamukungubagidde n'awunzika ng'agamba abantu beewale nnyo Corona kubanga atta. Lipoota ku kufa kwa Muzaata eyogera ku Pneumonia yekka era Sheikh Muhamood Kibaate yategeeza Bukedde ku Lwokutaano nti Muzaata baamukebera ne kizuulwa nti talina Corona.

Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) bwe yabadde ayogerera e Kibuli mu kukungubagira Muzaata yagambye nti abantu abamu ssi bamativu ku nfa ya Muzaata era baagala lipoota ennambulukufu ku kyamusse. Dr. Hasib Takuba bwe yabadde ayogera e Kibuli yagambye nti omugenzi yasooka kulumizibwa mu nnyingo obulwadde ne busaasaana mu bitundu by'omubiri ebirala, kyokka olw'okuba abadde musajja mugumu nga yeewaliriza n'agenda ku mikolo gy'abantu egy'essanyu n'ennaku gy'aba ayitiddwa.

Swaleh Mutebi mukwano gwa Muzaata yagambye nti ekiseera ekyasembyeyo, Muzaata yabadde alumizibwa nnyo mu nnyingo. Bwe baali mu kuziika Haji Faruk Kaggwa e Mpigi ku Bikondo nga October 29, 2020 Muzaata yasaba entebe kw'aba atuula mu kifo ky'okutuula wansi ku mukeeka. Mu kuziika kuno yagaana abantu okumusemberera n'akuutira abantu okwekuuma Corona, gwe yagamba nti yali waali wadde nga waliwo abamuteekamu eby'obufuzi.

Yasuubiza okuddayo e Mpigi nga December 26, 2020 Katonda bwaliba amusobozesezza ku dduwa ya Haji Kaggwa, ekintu ekitaasobose. Sheikh Muzaata yakoma okuba ku mukolo nga November 19, 2020, muwala wa Haji Adam Jjuuko ow'e Kigo bwe yali ayanjula bba.

Enkeera bwe baddamu okumuwuliza n'abagamba nti teyeewulira bulungi. Ennaku bbiri ezaddirira yeeyongera okunafuwa okutuusa lwe yatwalibwa mu ddwaaliro gye yafiiridde ng'amazeeyo wiiki bbiri. Ensonda mu ffamire zaategeezezza nti wadde nga Sheikh Muzaata abadde n'obulwadde bwa Puleesa ne Sukaali bibadde tebibeeraliikiriza kuba abadde yejjanjaba bulungi, ng'agoberera amateeka g'abasawo era baabadde basuubira nti waakussuuka asiibulwe, naye Allah n'agera bw'atyo.

"Abadde afuna empiso buli kawungeezi ku ssaawa emu era ng'obulwadde bwe tebweraliikiriza. Twabadde n'essuubi lya maanyi nti Sheikh waakujjanjabwa awone, naye Allah y'agaba ate era y'aggyawo." Omu ku ba ffamire bwe yagambye. Kyokka waliwo aba ffamire abaagambye nti ebizibu bye yafuna mu maka nabyo byandiba nga byayongedde okumukosa, embeera n'essajjuka.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts