ABAKUZA ne mikwano gya Sheikh Nuhu Muzaata bataddewo akakiiko k'abantu mwenda okukung'aanya ebyobugagga by'omugenzi n'okukola ku byonna okuli okutegeka Edduwa erisomwa oluvannyuma lw'ennaku 40.
Akakiiko kaliko mukulu wa Muzaata ayitibwa Musa Kaboyo. Kalondeddwa wakati mu lutalo olusituse mu famire. Eyali mukazi we Amina Bugirita yayingiddewo ng'agamba nti ennyumba ya Muzaata e Kawempe mu Keti-Falawo yagiteekako ssente okugizimba eteekwa kuba y'abaana be Hamidah Nassozi ne Amjadi Ssozi.
Ate mukazi we Kuruthum Nabunya agamba nti ye mukazi wa Muzaata amanyiddwa mu mateeka. Bamaze ne Muzaata emyaka 20 ne bazaala omwana Anwar Ssessanga ow'emyaka 12. Ssessanga abadde asula ne Muzaata mu kisenge. Ekirala ebintu bingi mu nju ebikozesebwa awaka ye Nabunya ye yabigula. Ekirala wadde yatabukamu ne Muzaata, ensonga zaabwe zaakolwako bazadde baabwe ne Bamaseeka era zibadde ziwedde.
Ekikaluubirizza Nabunya kwe kuba nga Muzaata bwe yafudde, Amina yayanguye okugenda awaka ate Nabunya n'agenda ku ddwaaliro lya IHK, Muzaata gye yafiiridde. Nabunya we yatuukidde e Kawempe ng'ekisenge kiggaddwa. Muzaata yafudde ku Lwokutaano n'aziikibwa e Kigogwa ku lw'e Bombo ku Lwomukaaga.
Eggulo ku makya, olukiiko lwatudde ne lussaawo akakiiko. Muganda wa Muzaata, Kaboyo yategeezezza olukiiko lw'abakuza nti alina ekiraamo kya Muzaata wadde nga tekyabaddewo mu kiseera ekyo. Abamu ku baabadde mu lukiiko Hajji Hasib Takuba. Akakiiko kaliko Hajji Badru Kakembo, Sheikh Ismail, Hajat Sarah Nakandi, Hajat Sharifah Nabitalo , Hajji Nurudin Nkata , Hajji Musa Kakembo ne Hajat Fatuma Nassanga.
Kyategeezeddwa nti ng'olukiiko terunnabaawo, abamu ku bafamire okuli Looya Fahad Matovu owa Nakacwa & Co. Advocates (ono Muzaata ye yamuweerera), Musa Kakembo, Sheikh Yassin ne Hajat Nabitalo bagguddewo ekisenge kya Muzaata okulaba ebiriyo. Ekimu ku byavuddeko okuggulawo ekisenge kwe kulaba ebyapa ebigambibwa okusoba mu 30, okuli ebya Muzaata n'ebirala ebyamuteresebwa abantu abamwesiga.
Bukedde bwe yabuuzizza Kaboyo yagambye nti ensonga zaabwe za famire. Bajja kuzimaliriza. Ebigenda okukolwako akakiiko kuliko okuwandiika n'okukung'aanya obugagga bwa Muzaata; okuzuula oba eriyo abamubanja naye b'abadde abanja; okutegeka Edduwa y'ennaku 40.
Mu Busiraamu omuntu asomerwa Edduwa oluvannyuma lw'ennaku 40 okuva lw'afudde. Kyokka eya Muzaata etuukira ku lunaku lw'okulonda kwa 2021. Obumu ku buvunaanyizibwa bw'akakiiko kano kwe kutuukirira Bamaseeka, Supreme Mufti Sheikh Kasule Ndirangwa n'Omuloangira Kassim Nakibinge okubategeeza ebya Edduwa n'okuwabula ku biteekwa okukolebwa.