
Emmeeri ya MV Kalangala eyongezza emirundi gy'esaabaza abantu okugenda ku kizinga olw'abantu abagenda okulambula mu nnaku enkulu okweyongera.
Okuva nga December 20 okutuuka January 4 2021, emmeeri ejja kusimbula e Nakiwogo e Ntebe okudda e Lutoboka mu Kalangala ku ssaawa emu ey'oku makya, ate bw'etuuka e Kalangala ejja kusimbula ku ssaawa 9:00 etuuke ku ssaawa 1:30 ezaakawungeezi e Ntebe.
Mu nnaku endala ebadde eva e Nakiwogo ku ssaawa 8:00 n'etuuka e Kalangala ku ssaawa 11.00 n'evaayo enkeera n'etuuka e Nakiwogo ku ssaawa nga ttaano nga kino kye baakyusizza.