Monday, December 28, 2020

Mukomye omulugube n'obulimba - Fr. Mayanja

Mukomye omulugube n'obulimba - Fr. Mayanja

BWANAMUKULU w'e Lubaga, Fr. Achilles Mayanja avumiridde omulugube ogususse mu bantu ensangi zino, ekivuddeko okuwa obujulizi obw'obulimba ku bannaabwe ne kivaako bangi okuvundira mu makomera n'okukyayibwa.

Bino yabyogeredde mu Mmisa ey'okukuza olunaku lw'omujulizi Stefano eyasooka okuttibwa olw'okujulira Kristu, eyabadde mu Lutikko e Lubaga ku Lwomukaaga nga December 26, 2020.

Mu Mmissa eno yabatizza abaana 59. Fr. Mayanja yagambye obulimba kuleese ebizibu bingi mu ggwanga omuli okuttingana, obubbi n'ebikolwa ebirala ebibi, n'asaba Abakristu okunywerera ku mazima ng'omujulizi Stefano bwe yakola.

Yabakuutidde okusonyiwa ababakola obubi kubanga ekibi tekimalaawo kibi era n'asaba bannabyabufuzi okusonyiwagana eggwanga lisobole okubeera mu mirembe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts