Monday, December 21, 2020

Engeri Uganda gy'esobodde okukwata ssennyiga omukambwe amavumbavumba

Engeri Uganda gy'esobodde okukwata ssennyiga omukambwe amavumbavumba

SEPTEMBER, 2020 gwali mwezi gwa mawulire malungi eri Uganda oluvannyuma lwa Bulaaya okugiteeka ku lukalala lw'ensi 9 z'erina okukyalirako okwongera okuzuula engeri ssennyiga omukambwe gy'alwanyisibwamu.

Bulaaya yasinziira ku alipoota eyafulumizibwa olukiiko olunoonyereza ku byobulamu mu nsi yonna (The Lancet Commission) eyali eraga Uganda nga bw'eri nnamba emu mu kulwanyisa ssennyiga omukambwe ku lukalu lwa Africa. Okunoonyereza kuno kwakolebwa mu mawanga 91 mu nsi yonna nga Uganda yali mu kifo kya 10 ku 91.

Kyanjawulo ki Uganda ky'ekola okwawukana ku nsi endala. Dr. Diana Atwine omuwandiisi wa minisitule y'ebyobulamu ow'enkalakkalira agamba nti okutuuka ku buwanguzi buno, Gavumenti yamala kulengerera wala embeera ya ssennyiga omukambwe n'esitukiramu n'egikwata mavumbavumba.

Okwanguyira okuggala ensalo, ekisaawe ky'ennyonyi n'enkung'aana byatuyamba omuwendo gw'abalwadde obutasooka kulinnya era n'okulwawo okulaba abafa. Wano twali tusobola okulondoola buli ekigenda mu maaso mu ggwanga nga n'ensobi bw'eba ekoleddwa osobala okumanya bw'etandise ekitaali ku nsi endala.

Abakulembeze nga bakulembeddwaamu Pulezidenti Museveni, Dr. Jane Ruth Acheng, obukiiko obwatondebwawo okulwanyisa akawuka wamu ne Bannayuganda okukkiriza okugoberera ebiragiro kyatuyamba okulwanyisa ssennyiga omukambwe. Okubeera n'abakugu naddala abasawo abaali balwanyisizzaako ku ndwadde ez'ekika kino okuli Ebola, Cholera n'endala.

Bano baatuyamba okutangira akawuka obutasaasaana mangu kuba baalina obukugu obwatuyamba okulondoola abantu okutuukira ddala ku disitulikiti wansi mu byalo. Enteekateeka Tetugenda kukoowa kusomesa bantu ku ssennyiga omukambwe era nga tweyambisa enkola zonna ezisoboka, obubaka ku bulwadde buno bwakugenda mu maaso nga butambuzibwa kuba teri kirala kye tusobola kukola okuleka okusomesa.

Ssennyiga omukambwe tasuubirwa kuggwaawo kati mu bantu era tulina essuubi ddene nti omwaka ogujja (2021) we gunaatuukira mu makkati tujja kuba tumaze okufuna eddagala erimugema ate nga bwe tweyongera okwekkenneenya erimuwonya. Tugenze tuteeka obujjanjabi bwa ssennyiga omukambwe mu malwaliro ga Gavumenti ag'enjawulo okwetooloola eggwanga, tutaddemu n'obusenge obw'abayi.

Lwaki omuwendo gw'abalwadde gweyongera Bannayuganda okuva lwe twaggyawo omuggalo ku bintu ebimu, baalekera awo okugoberera ebiragiro bya minisitule y'ebyobulamu. Obukookolo babutambuliza mu nsawo, balowooza obulwadde tebuliiyo naye njagala okubategeeza nti ssennyiga omukambwe mu Uganda ali ku mutendera ogwokuna. Kino kitegeeza nti kati akawuka kali mu buli kifo era kati tewali asobola kumanya ani amusiize kawuka, n'okulondoola abo omulwadde b'abadde nabo kibeera kizibu.

Emyezi egyasooka twali tusobola okumanya ani asiize ani naye kati kizibu kitegeeza buli muntu yeefeeko yekka. Bannabyabufuzi balina okweddako, bafune ku nsonyi kuba abalonzi baabwe bonna bayinza okufa nga n'akalulu tebakabawadde. Enkola ya tebinkwatako mu ggwanga eyongera ssennyiga omukambwe okwegiriisa.

Abantu nga 80 ku buli 100 buli omu akola bibye tafaayo ku balala oba muliraanwa we. Ssennyiga omukambwe okumulwanyisa twetaaga buli muntu okuba mukuumi wa munne, ssinga olaba munno tafuddeeyo kwekuuma, mujjukize, yogera naye mu ngeri ennungi.

Twewale okulinda obulwadde okututeeka wansi, tufube okwekebeza nga bukyali kuba omulwadde tumujjanjabira bwereere naye ssinga atuuka mu mbeera y'okujjanjabirwa mu busenge bw'abayi, buli lunaku asasula akakadde ka ssente. 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts