Thursday, December 31, 2020

Entaana yange nagisima emyaka 16 emabega nga saagala kutawaanya bantu- Kyapambalaasi

Entaana yange nagisima emyaka 16 emabega nga saagala kutawaanya bantu- Kyapambalaasi

"ENTAANA yange nagisima emyaka 16 emabega nga saagala kutawaanya bantu- Kyapambalaasi" Kyapambalaasi.

Can. Ddungu era yatutegeeza ku ntaana ez'enjawulo z'azze asima, omuli gye yasooka okusima mu 1973 ku kiggya awaaziikibwa kitaaawe Yuda Ddungu Kaboggoza e Nateete n'ey'e Busega w'agenda okuziikibwa ku Lwokutaano;

"Nasooka ne nsima entaana eyange mwe balinziika ng'eri ku kiggya awali kitange e Nateete, nga nsuubira nti nange we balinziika, kyokka ate nga kya muzizo
omukyala okubeera okumpi ne ssezaala we ku kiggya ekimu. Mukyala wange yannenya n'anzijukiza nti twalayira obutaawukana kubanga amazima twayagalana nnyo.

Mukyala we Ruth Nambwere Ddungu yafa mu June w'omwaka
guno, babadde baakamala emyaka 62 mu bufumbo obutukuvu nga
baagattibwa nga December 15, 1957.

"Lumu abamu ku bakulu b'Ekkanisa bajja ne bansaba nzikirize nziikibwe ku Kkanisa e Busega awali ekiggwa ky'abajulizi abaasooka okuttibwa ate nga nze nagizimba, nziikibwe okumpi n'abajulizi nti kubanga nkoledde bingi Ekkanisa.

Bansaba tukikkaanyeeko nga tukyali balamu, tukole n'obuwandiike nga ne bwe tuliba tuvudde mu nsi, abasigaddewo baleme okubasumbuwa. Nakkiriza
bwe tutyo ne tuzimba entaana zaffe bbiri; eyange n'eya mukyala
wange ku Kkanisa ya Uganda Martyrs Church Busega.

Entaana zaffe twaziyooyoota bulungi era ne tuterekamu ebintu byaffe bye twalaba nga by'eby'omuwendo nga bino bye bifaananyi bya bakadde baffe abatuzaala mpozzi n'ebyaffe eby'enkizo bye twayagala okuterekayo.

Ennyumba twagiteekamu amataala aganaatwakiranga tuleme kuba nnyo mu kizikiza ne tuteekamu ebyo bye twawulira nga bye bitusanyusa era nga teri
kusumbuwa bantu nti ate kusima."

Mu Kayumba Kano Mw'agenda Okuziikibwa Era Ne Mukyala We Mwe Yaziikibwa

WAAKUZIIKIBWA KU LWOKUTAANO YALONDA N'ANAAKULIRA EMIKOLO GY"OKUMUZIIKA
Bp. Dunstan Bukenya omulabirizi w'e Mityana eyawummula agamba, "omugenzi yali mukwano gwange nnyo, twakola nnyo emirimu gy'Ekkanisa mu Bulabirizi bw'e Mityana.

Yannonda okukulira emirimu gy'okutegeka okuziika kwe era waakuziikibwa ku Lwakutaano ku ssaawa 8:00 ku Kkanisa gye yazimba eya Uganda Martyrs Church e Busega awali entaana ye.

Wajja kusookawo okusaba kw'okwebaza Katonda emirimu gye ate ku Lwokuna
wagenda kubaawo era okusaba mu maka ge e Nateete.

Abantu ab'enjawulo omubadde ne Aloysius Mukasa eyeesimbyewo ku kkaadi ya
NUP ku kifo ky'omubaka wa Lubaga South baatuuseeko mu maka ga Kyapambalaasi.

Ddungu yazaalibwa mu 1936 e Kabuwoko - Masaka, pulayimale yagisomera Nkoni, n'ajja ku Mackay College e Nateete emisomo n'agimalira ku Mityana Bishops gye yasomera n'Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula,
George William Sinnabulya.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts