Thursday, December 31, 2020

Zebra Ssenyange yaani ?

Zebra Ssenyange yaani ?

Yazaalibwa mu 1980 e Masuuliita mu disitulikiti y'e Wakiso. Alese nnamwandu Mercy Mukankusi gw'alinamu abaana basatu, Isaac Ssenyange Jr, Divine Ssenyange ne Davina Ssenyange.

1. Ebikonde yabitandikira Kololo SS mu 1993 gye yava okwegatta ku Dynamic SS e Ssonde mu 1998.

2. Yakiikirirako ttiimu y'eggwanga ' The Bombers', era ye yagiduumira mu mizannyo gya Afrika egyali e Mozambique, mu 2011.

3. Mu 2001, yagenda e Bungereza n'azannyirako ttiimu yaabwe eya ‘Great Britain' mu 2008, kyokkka oluvannyuma yasibwa ku bigambibwa nti alina omuwala gwe yakabassanya.
4. Abadde mutendesi wa The Bombers' ate nga y'avunaanyizibwa ku guno na guli (Head of generalduties), mu ofiisi ya pulezidenti w'ebikonde.
5.Ssenyange y'abadde akiikirira abazannya ebikonde bya pulofeesono ku kakiiko.

ENNWAANA ZE

Mu bikonde Zebra alwanye buli lutalo n'aluggusa mu miguwa ne wabweru waagyo. Ng'akyazannya eby'abakyakayiga ne ‘The Bombers' yazannya ennwaana ezisoba mu 200, nga mu zonna yakubwamu lumu lwokka.

Mu byapulofeesono, azannye ennwaana 20 kw'awangulidde 18 n'okulemagana bbiri. Wabweru w'emiguwa alwanye entalo okuli olw'okuggya eyali pulezedenti wa UBF, Kenneth Gimugu mu ntebe n'ayamba Moses Muhangi aliko mu kiseera kino.

Abadde n'akakuku ne Haruna Banabana era olulwana lwabwe olwaliwo mu 2012 twerwagwa abawagizi bwe baalwana.

Mu 2019  ku fayinolo za National Open beekubira mu maaso ga Lt. Gen Muhoozi Kainerugaba eyali omugenyi omukulu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts