Omuvubuka Gowin Tumusiime 25, gwe baakutte ng'abba emitayimbwa ne bamukuba emiggo yeekalizza mu baamukutte bw'abasabye basooke bamutwale mu ddwaaliro afune obujjanjabi alyoke abalagirire gye yagitadde.
Tumusiime mutuuze w'omu Ssebina zooni mu muluka gwa Makerere III ng'atunda matooke. Yakwatiddwa poliisi y'oku Kaleerwe oluvannyuma lw'abantu okumusanga ng'abba emitayimbwa ku kizimbe ky'omugagga Mugumya ku Kaleerwe. Yagguddwaako omusango ku Fayiro SD REF:38/28/11/2020.
James Mutyaba yategeezezza nti Tumusiime baamukwatidde waggulu ku kizimbe ng'asitula emitayimbwa ku ssaawa 3:00 ez'ekiro ne bamukuba era omuserikale w'amagye ye yamutaasizza n'amutwala ku Poliisi.
Olwamutuusizza ku poliisi yeefudde ali mu mbeera embi nga bwasaba bamutwale mu ddwaaliro kyokka yalabye abaserikale bali ku bibye ne yeemulula n'adduka nga kati bamunoonya.