
John Katumba eyeesimbyeewo okuvuganya ku kifo ky'omukulembeze w'eggwanga yagaanyi okwekubisa ‘serefi' n'abawala bw'agambye nti babitimba ku mitimbagano (social media) abantu ne bamutunuulira ng'atakyali ku mulamwa.
Abamu baagala okwekubisa nange ‘buserefi' bwe bamala ne babuteeka ku mitimbagano olwo abaamawulire ne babussa mu mawulire ne kinteeka mu kifaananyi ekirala ng' atakyali ku mulamwa gw'akunoonya.
" Nze ebya ‘serefi' n'abawala mbikooye era sikyabyagala" bwe yeecwacwanye.
Yabadde mu maduuka e Buikwe n'asaba abaayo okimuwandiikira olukalala lw'abali b'enguzi n'ababbi b'ettaka bajja okutandikirako okutunda ebyabwe azzeeyo ssente ze babba.
Yagenze e Kiyindi ku mwalo, Njeru, Mbikko, Nakibizzi , Najjembe ne Lugazi gye buvuddeko.