FFAMIRE z'abaakubiddwa amasasi omu n'attibwa abeebyokwerinda bwe baabadde bagezaako okugumbulula olukung'aana lw'omu ku bavuganya ku bubaka bwa Palamenti ow'e Ssaza ly'e Kyotera, John Paul Mpalanyi ku kyalo Nakatoogo mu ggombolola y'e Nabigasa mu Kyotera, balaajanidde Gavumenti ebeeko ky'ekola ku bannabyabufuzi abasusse okutaayaaya n'emmundu ze batandise okweyambisa okutta abantu abatalina musango.
Richard Kayabula 40, ow'oku kyalo Mabunwe mu ggombolola y'e Nabigasa ye yakubiddwa amasasi asatu ku mutwe n'afiirawo n'abalala babiri okuli Hakim Walukagga ne Amos Mazinga ne balumizibwa. Olukuhhaana luno lwabadde mu kabuga k'e Nakatoogo.
Okusinziira ku Patrick Mwogezi eyabadde mu kifo ewaabadde akanyoolagano yategeezezza nti, olukuhhaana lwabadde lutambula bulungi kyokka Mpalanyi bwe yalinnye akatuuti abaserikale okuva ku poliisi e Kyotera nga baduumirwa DPC, Judith Akello ne balumba ne batandika okukuba ttiyaggaasi ne beegattibwako abasajja nga mukaaga abaabadde mu ngoye za leeya abaatandise okukuba amasasi nga bwe bawa ebiragiro okubaako abantu be bakwata era bano be baasinze okukuba nga kwe kuli n'eyafudde.
Teddy Nakiweewa yategeezezza nti, yabadde ayimiridde n'omugenzi yagambye nti, "ttiyaggaasi bwe yayitiridde twadduse ne twekweka era bwe yakendeddeemu ne tufuluma kyokka ng'abasajja abemmundu beetala ne tusooka tuyimirira nga tusobeddwa. Nagenze okulaba abasajja 2 nga bava mu mmotoka ya Premo omu ng'alina emmundu ataabadde na mmundu n'atusongamu ekyaddiridde gaabadde masasi era gonna asatu gaamukutte era teyazzeemu olwo nga nze nagudde dda wansi," Bwe yategeezezza.
Patrick Kisekulo, Ssentebe wa disitulikiti y'e Kyotera yagambye nti, baategeddeko nti abaserikale abakuuma Kasolo naye yennyini baabadde babalondoola kyokka yasigadde walako ng'ayogera n'abawagizi be abaabadde ebusukkakkubo olwo n'abulawo kyokka abakuumi be abaabadde mu ngoye eza leeya ne basigalawo nga bano beebayambiddwaako poliisi okukola effujjo era nti omu ku bo ye yakubye Kayabula amasasi.
Abooluganda lwa Kayabula be twasanze ku ddwaaliro e Kaliisizo nga balinze omulambo nga bakulembeddwa Robert Kayabula yalumirizza Kasolo okubaako ne ky'amanyi kubanga mu lukiiko lwe yasemba okukuba ku kyalo Mabunwe yalabula omugenzi okumwesonyiwa n'agattako nti, ‘omuntu bw'akwata mu kamwa kembwa emuluma' era n'amusasula 250,000/- nga ze zimu ku bukadde 3 omugenzi z'abadde amubanja bwe yasomba amatoffaali n'omusenyu ng'azimba ennyumba ye kyokka n'amukomekkereza okumwesonyiwa.
Yalese abaana 5. Ffamire ya Hakim Walukagga omu ku baakubiddwa ng'ali mu ddwaaliro e Kalisizo nga bakulembeddwa mukyala we, Lukia Nabiteeko baasabye abeebyokwerinda okuggyawo kyekubiira kubanga buli bwe bagenda okuwaaba tebawulirizibwa.
Yasabye Pulezidenti abakozesa emmundu mu kunoonya akalulu zibaggyibweko. Walukagga yali ddereeva wa Kasolo era okuva lwe baayawukana bali ku mbiranye. Oluvannyuma baabawadde omulambo ne bagenda mu kyalo e Mabunwe mu maka g'omugenzi wakati mu miranga n'okwazirana okuva mu bakungubazi abasabye Gavumenti okunoonyereza abaakoze ekikolwa kino.
Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Muhammad Nsubuga yategeezezza nti embeera eno yavudde ku bawagizi b'enjuyi ebbiri okusisinkana mu kifo awaabadde olukuhhaana kyokka baakakwata abantu bana n'emmundu nnya okwetegereza emmundu ezaavuddemu amasasi agasse abantu. Kaweefube w'okwogerako n'omubaka Kasolo okutangaaza ku nsonga eno yagudde butaka olw'essimu ye obutabeerako.
Source