FAMIRE ya Sheikh Nuhu Muzaata Batte esiimye Gavumenti olw'obuyambi bwe yawaddeyo okuva omugenzi lwe yalwala okutuusa Allah bwe yamujjuludde. Dr. Hasib Takuba eyayogedde ku lwa famire mu kusaalira Muzaata e Kibuli yategeezezza nti Gavumenti bwe yategeera nga Muzaata alwadde yasikitukiramu okutaasa obulamu bwe.
Kalabaalaba w'emikolo gy'okuziika yategeezezza nti baafunye amabugo okuva mu Gavumenti ga bukadde 20.
Obuyambi bwavudde mu ofiisi ya Pulezidenti. Omuyambi wa Pulezidenti, Lt.Gen. Proscovia Nalweyiso yategeezezza Bukedde nti Museveni yamulagira okukwatagana ne Sheikh Muzaata amuwe obukuumi mu kiseera Bamaseeka we baafuunira okutiisibwatiisibwa okuttibwa.
Pulezidenti Museveni ye yalagira Nalweyiso okuwa Muzaata obukuumi era n'amuwa abaserikale ababadde bakuuma ewaka n'okutambula naye. Nalweyiso yawa Muzaata abaserikale era babadde bawuliziganya.
Nalweyiso yagambye nti Muzaata bwe yalwala gwe yasooka okukubira essimu kyokka n'atamufunirawo.
Oluvannyuma Nalweyiso yaddamu okukuba ku ssimu ye nga teriiko, okutuusa lwe baamuwa eya ddereeva we eyamuwa Muzaata ku ssimu ne boogera.
"Bwe twayogera nnatya nnyo kubanga eddoboozi yali abaka libake ng'ali mu ddwaaliro n'antegeeza nti yali tasobola kussa bulungi", bwe yategeezezza. N'agattako: nnamuweereza obukadde 20 zimuyambeko okumulabirira.
Oluvannyuma lwa wiiki emu, yagambye nti eddwaaliro lya IHK lyabalaga nti omulwadde yali abanjibwa obukadde 32 ze baazisasula. Ate Muzaata bwe yafudde, eddwaaliro ne liraga nga libanja obukadde 36 nazo ne baziwaayo. Kwe bagasse n'amabugo obukadde 20. N'agamba nti okuva Muzaata lwe yalwala Gavumenti emusasaanyizzaako obukadde 108.
Nalweyiso yakungubagidde Muzaata gwe yayise mukwano gwe. N'asaasira famire, Obusiraamu n'emikwano okufiirwa omusajja ow'omugaso.