Monday, December 7, 2020

Loodi Meeya Erias Lukwago akomyewo

Loodi Meeya Erias Lukwago akomyewo

Lukwago ng'ali n'abawagizi be.

Loodi Meeya wa Kampala, Ssaalongo Erias Lukwago akomyewo okuva e Nairobi gy'amaze ebbanga ng'ajjanjabibwa. Ayaniriziddwa abawagizi, bannabyabufuzi n'abooluganda.

Lukwago (owookubiri ku kkono) ne bamasheikh nga bamulombera Dduwa mu maka ge.

Oluvudde e Ntebe asibidde mu maka ge e Wakaliga era olutuusa asanzeeyo bamasheikh abamusomedde Dduwa okwebaza Allah olw'obulamu bwe n'okumusuusa obulwadde.  

Yasooka kujjanjabwa mu ddwaaliro lya Aga Khan University abaamwongerayo e Nairobi. Lukwago alina obulwadde bwa Anaphylaxis obwa' alajje' enkabwe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts